WABADDEWO okukyamukirira okuva wiiki ewedde amawulire bwe gaafuluma nti kyadaaki ensalo ya Uganda ne Rwanda eyali yaggalwa okumala emyaka 3 egenda kuggulwa.
BannaNsi ba Rwanda abali mu Uganda saako n’abantu baabwe bonna baatandika okwesunga okudda ewabwe balabe ku bantu be baalekayo saako ne mirimu gyabwe.
Wabula ku ssawa nga 5 olw’aleero ababadde baatuuse edda ku nsalo kibabuseeko okulaba nga abakungu ba Rwanda abakkirizaako abo bokka abalina obutuuze oba Densite za Rwanda bokka okuyingira ku nsalo e Gatuna.
Sarafina Nyirasengimana nga ono mutuuze we Rwanda era nga okuggala ensalo kwamusanga azze mu Uganda okulaba ku baana be mu bitundu bye Mubende, agambye nti baafunye amawulire nga waliwo ow’oluganda lwabwe afudde mu Rwanda kwe kukeera bagende basobole okusala ensalo nga bwe kyalagirwa nti ziggulwawo nga 31bagende baziike.
Agamba nti ye n’abaanabe bakedde nawankya okugenda ku nsalo, wabula bwe batuuseyo enviiri zibavudde ku mutwe bwe basanze nga bannaUganda tebakkirizibwa kuyingira okujjako abalina obutuuze bwa Rwanda bokka.
“Byetwalaba mu mawulire ssi byebiri wano, kati abaana bange ngenda bakola ntya abalina densite za Uganda” sarafina bwategezezza.
Nelson Nshengabasheija Ssentebe wa Disitulikiti ye Kabale ategezezza nti ensonga eyo bagenda kugitaanya n’abakungu be Rwanda mu nsisinkano gye bagenda okutuuza amangu ddala
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com