BANNAUGANDA ku mukutu gwa face book bakaayukidde omuyimbi Catherine Nabuule Kusasira nga entabwe evudde ku bubaka bwe yasasanyiza ku mitimbagano nga agamba nti ebibye byonna by’aggwawo lwa kuwagira Pulezidenti Museveni saako n’okulafubana okuyamba abavubuka bave mu bwavu.
Mu bubaka buno era mwabaddemu ebigambo ebilaga butya bwe yayamba ennyo ekibiina kya NRM okukyusa abavubuka okuva ku by’okuwagira omukulembeze we kibiina kya NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu, nalaga nti yassaamu ensimbi mpitirivu ne bimu ku by’obugagga bwe ne bigenda.
Ono yayongeddeko nti era yeewola ensimbi mpitirivu okuva mu ma banka ag’enjawulo era naaziteeka mu kampeyini nga asuubira okusasulwa nga okulonda kuwedde nti kyokka yerabirwa era teri amulowozaako mu Gavumenti.
“Nejjusa olunaku lwe natandika okuwagira ekibiina ekiri mu buyinza ki NRM, kubanga kindekeredde ngudde mu nvuba nzenna sisigazza kintu, mikwano gyange gyonna gy’ankyawa saako n’omulimu gwange ogw’okuyimba gw’asaanawo dda” Kusasira bwe yakaabiridde NRM ku Facebook.
Yewunyizza lwaki NRM gye yawekanga ku mugongo buli kadde emulekerera mu kiseera ekizibu, nga ne mirimu gye gyonna mwe yali ajja ensimbi gy’asaanawo dda, nti kyokka teri yadde muntu yamusiima ku mirimu emingi gye yakola nga kwotadde n’okuvumwa bannaUganda.
BannaUganda bamwanukudde.
Ssejjengo Kasozi; Kusasira totukaabirira wano walinga weraga nga ovuga emmotoka ennene saako n’okumansa ensimbi nga tomanyi nti ekiseera kijja kutuuka nga ozaagala, kookilabe twakugambanga nga welaga ne mikwano n’okyusa kati kkiriza nti baakukozesa bukozesa era nebasuula tukooye amaziga go.
Kalule Patrick; Kusasira tumanyi oyagala kubba Museveni, naye manya nti ensimbi zonna ze mwayiwayiwanga zaali zaffe bawi bamusolo era ne Pulezidenti kenyini akimanyi tolowooza nto katia akyalowooza ku byali mu kampeyini waapi alowooza bilala nnyo.
Chelangati Isabell; twawulira nti wafuna ensimbi nnyingi n’ozikyakalamu n’abalenzi bo e South Africa so totukabirira.
Paddy Patrick, Olulala Museveni wakuwanga sente olina okuzikozesa obulungi kubanga emyaka 36 gyamaze mu buyinza akozesezza abantu bangi ssi gwe asoose wewummuzeeko.
Gye buvuddeko kigambibwa nti omuyimbi ono yagenda ne bayimbi banne e Gulu okulaba Gen. Salim Saleh nti kyokka yasanga ekilagiro ekyali kyawereddwa abakuumi nti ye yali takkirizibwa kusembera wali mukulu olw’ensonga ezitategerekeka.
Ono mu biseera by’okulonda yekwata akatambi bwe yali nga yeebagazze omusimbi omuyitirivu, era naaduulira bannaUganda nti atawagira NRM alabye ekintu ekiteberezebwa okuba nti kyanyiiza abamu ku bakungu mu kibiina kya Nrm ne Pulezidenti.
Ensonda mu NRM ziraze nti ono yawebwa ensimbi z’okuzza obuggya ekkolero lye ely’ebizigo saako ne mmotokka kapyata Land cruiser V8.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com