Amawulire g’okufa kwa Fr. Simon Lokodo gasasanidde emitimbagano ku ssawa 5 ku lw’omukaaga.
Ono kitegerekese nti afiiridde mu Ggwanga lya Switzerland mu kibuga ekikulu Geneva gyabadde yagenda ku mirimu emitongole egy’ekitongole ekilwanirira eddembe mu Ggwanga UHRC.
Era kitegerekese nti ono olwamaze okwanjula alipoota gye yabadde yeetisse, ekyaddiridde kwe kufunamu embeera etabadde nnungi mu bulamu bwe ekyaddiridde kutwalibwa mu ddwaliro gyafiiridde enkya ya leero.
Akulira eggwandisizo lya mawulire mu Ggwanga Ofono Opondo naye akakasiza bino bwabadde ku Leediyo ya Capitala ku pulogulaamu ya Capital Gang, ekiseera kitono nga naaba kakiiko ke ddembe ly’obuntu bamaze okuteeka amawulire ku kibanja kyabwe ekya Twitter.
Lokodo yali Minisita okumala emyaka 10 nga avunanyizibwa ku mpisa n’obuntubulamu mu offiisi y’omukulembeze we Ggwanga.
Gye buvuddeko era yafuna obuzibu bwe yali ku bizinga bye Kalangala naddusibwa mu ddwaliro nga ali bubi era eggye lya UPDF ne lisindika ennyonyi eyamujjayo okumutwaka e Kampala.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com