NGA Uganda ekuza olunaku lwa Bazira oluvanyuma lwe myaka 36 nga bawangudde olutalo lw’ekiyekera olwayindira mu bitundu bye Luwero ne Disitulikiti ez’omulirwano, kitegerekese nti bingi ebituukiddwako saako ne bilemye ntoko.
Okuva abayekera ba NRA lwe baakwata obuyinza nga 26, January, 1986 nga bakulemberwa munnamaggye Yoweri Kaguta Museveni byalinga eby’okusaaga nga kati giweze emyaka 36 be ddu nga batambuza e Ggwanga.
Baamala emyaka 10 milamba nga bakulembera era nga tewaaliwo kulonda mu kiseera ekyo, nga kino baakimala nga bagamba nti bakyatereeza engeri e Ggwanga gye lyali litaaguddwamu olutalo olwaleka abangi nga bafu, ne by’obugagga byabantu okusanawo.
Mu 1996 baategeka okulonda era omukulembeze eyaliko Yoweri Kaguta Museveni akalulu naakawangula nga n’okutuusa kati yakyafuga ekisanja ekijja okuggwako mu 2026.
Bingi bikoleddwa wakati mu kutwala e Ggwanga mu maaso, kyokka era nga bingi ebikyalemye nga akulira abalwanyi bonna mu Ggwanga Haji Edrisa Sseddunga bwategezezza mu mboozi eyakafubo n’omukutu guno.
“Okusooka neebaza abantu bonna abasobola okulaba nti waaliwo obw’etaavu bw’okuyingira ensiko tumamuleko Gavumenti yabasibira mu bbwa abantu baffe bafune emirembe.
Neebaza naabo bonna abasobola okuwa abaana baabwe naddala wano mu Buganda ne batendekebwa okulwanyisa abampembe saako n’okutuwa obuyambi obwa buli kika bwe twali mu lutabaalo.
Neebaaza omudduumizi w’amaggye ow’okuntikko Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni olw’ebilungi byakoledde e Ggwanga lino n’okusingira ddala obutebenkevu kubanga abantu baffe beeyagala, bakola emirimu gyabwe awatali kutataganyizibwa kwonna.
Ebintu bingi bituukiddwako kyokka nga ebilala bikyagaanye naye tulina esuubi nti bijja kuterera.
Enguzi; ekyamazima enguzi yo ekyatulemeredde naddala mu bakungu ba Gavumenti ne mu nkola ye mirimu, obubbi bwe nsimbi mu bantu ssekinoomu ne ziganyula abatono ensonga eyo ekyatubobbya emitwe nga abalwanyi, era tulina okujisalira amagezi amangu ddala.
Abantu sekinoomu beekomya ensimbi z’omuwi w’omusolo ezandibadde ziganyula abangi ne batazikozesa mirimu emituufu eziziwesezaayo, kyokka ne batakwatibwako mu ngeri eyo tulina okulwana okulaba nga bino bikoma.
Okugoba abantu baffe naddala ab’ebibanja ku mattaka nayo nsonga nnene nnyo era etusuza tetwebase nga watekwa okubaawo ekikolebwa amangu ddala kubanga abantu baffe bakaaba.
Okusasula abazirwanako nayo nsonga olumu etutabula kubanga olumu tusasula abantu abataliiyo, ate abatuufu ne basigala nga tebafunye nsimbi zaabwe, naye kati tutandise okuddamu okwetegereza ensonga zino zonna n’okutereza ebyali byasoba abakyamu baggibwemu.
Obumu ku bumulumulu obuli mu by’okwerinda obwo bugenze bavaamu kubanga saagala bannaUganda babeere ku bunkenke eno Gavumenti ya kiyekera teri ayinza kutulemerera” Sseddunga bwe yagambye
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com