Abamu ku balonzi ne mikwano gy’eyali Minisita wa mazzi Ronald Kibuule beenenyezza mu maaso ge era ne bamusaba akomewo avuganye ku kifo ky’obubaka bw’ekitundu kya Mukono ey’amambuka ebilala abibalekere.
“Mukama waffe twenenya mu maaso go wano nti twakola ensobi okulonda omuntu gwe twali tetamanyi ne tukusuula, naye gwe gamba bugambi nti okomawo ebilala Osilike nga enjogera ye nnaku zino”
Ekyamazima twalonda omuntu atabeerangako yadde mu bukulembeze ku kyalo naye twatandika dda okukaaba olw’enkolaze naye tukusaba okomewo otaase ekitundu kyaffe mu bye nkulakulana” Bwe baategezezza mu buluuulu obungi.
Baabadde ku wooteeri ya Mzuuri Africa esangibwa mu Town Council ye Namataba ku kabaga k’amazaalibwa g eke baamukulizza okuweza emyaka 38.
Bano nga bakulembeddwamu eyesimbawo ku bwa Meeya bwe Mukono ku kaadi ye NRM Deisy Ssonko baategezezza Kibuule nti betegefu okulwanira saako n’okuwenja akalulu ke singa akomawo ku kifo ky’obubaka nti kubanga ye yali amanyi ennaku y’abantu ba Mukono North saako ne bye nkulakulana.
“Banange twafiirwa omubaka omugabi ne tulonda omukopi ekyo kimaze okweraga mu bbanga ettono lye tumaze naye, kati twagala okukwetondera nti twakolamu ensobi, naye ekilungi weetuli bwotugamba nti okomyewo zijja kudda okunywa”
Ebintu byonna bye waleka okozeeko nga tonamaliriza nga okuleeta amasanyalaze mu kabuga ke katoogo byonna byakomaawo, tufukamidde tukusaba okomewo” Ssonko ne banne bwe baagambye.
Ye Kibuule mu kwanukula yabebazizza okumutegekera akabaga ka mazaalibwa ge, nabasaba baleme okwekubagiza kubanga baakigwamu nga balaba.
“Mwe ne mulonda omuntu atakulemberangako wantu wonna yadde mu ssomero, olwo mwali mumusuubiramuuki? Kibuule bwe yabategezezza.
Yagambye nti talina buzibu agenda kudda avuganye era entebbe akyajagalira ddala era n’asuubiza okugoberera ebintu byonna bye yali atandise okukola mu kitundu kye okutuusa nga biwedde.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com