Ssentebe wa Disitulikiti ye Mukono Rev. Peter Bakaluba Mukasa alabudde abakulembeze be byalo bonna mu Mukono obutetantala kukozesa bubi bugaali bubawereddwa Gavumenti, nti kubanga ssi bwabwe nga abantu wabula bwa byalo enkiiko ezibifuga saako n’abantu be bakulembera.
Bakaluba agamba nti buno obutafananako n’abuli obw’ekibiina ekiri mu Buyinza NRM obwagabibwa mu kiseera ky’okulonda, buno bwo bwa Ggwanga era bwawereddwayo Gavumenti eyawakati, era nga bulina okukozesebwa olukiiko olufuga ekyalo saako n’okuyambako ku batuuze ababa balina eby’etaago.
“Oba oli awo Gavumenti yandibadde ebawa entambula esingako wano naye nammwe mulaba terina sente kale tukozese kye tufunyeeko ate tukikwate bulungi nga bwetulinda ne bialala” Bakaluba bwe yategezezza.
Okwogera bino yabadde awaayo obugaali obwawerezebwa Gavumenti eri ba Ssentebe be byalo mu magombolola okuli Mpunge, Nakisunga ne Ntenjeru Kisoga Town Council ku lw’okuna.
Bbo ba Ssentebe abaafunye obugaali baasabye Gavumenti okwongera okubalowozaako bafunirwe ebyetaago ebisingako awo kubanga balina emirimu mingi egibetolodde kyokka nga bakolera bitole bya mmere, nabalala baategezezza nti basusse omutindo gw’obugaali nga Gavumenti yandivuddeyo ne ntekateeka esingako awo.
Mu mwaka gwa 2011 Gavumenti yasalawo okufunira ba Ssentebe ba LC1 abasoba mu 70,000 obugaali okusobola okubayambako mu ntambuza ye mirimu ku byalo byabwe, era nga entekateeka eno yali etereddwako obuwumbi 4 n’obukadde 600.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com