KKAMPUNI ensogozi y’omwenge eya Uganda Breweries Limited nga ekolaganira wamu ne minisitule ye by’obulamu basazeewo okusooka okugema bannanyini n’abakozi b’omumabbaala nga tebanaba kuggulawo wiiki ejja okusobola okutangira ekilwadde kya Covid 19.
Kawefube ono atandise ku lw’okuna mu kibangirizi kya bannamakolero e Lugogo, nga abakozi n’e bannanyini bifo omusanyukirwa n’okutundirwa omwenge bonna basuubirwa okujja bagemebwe.
Abalala abalina okuganyulwa mu ntekateeka eno kuliko abatwala ebifo ebilala ebisanyukirwamu omuli zi Giimu, Sauna, ebibanda bya Firimu, ebifo ebitunda emmere saako n’ebifo bya katemba.
Kino we kijjidde nga omukulembeze we Ggwanga mu kwogerakwe bwe yali aggalawo omwaka gwa 2022 yagamba nti talina buzibu nakuggulawo mirimu gyonna mu Ggwanga, kyokka nategeeza nti okugema kulina okwongerwamu amaanyi.
Bwabadde atongoza omulimu guno akulira kkampuni ya Uganda Breweries Limited Eunice Waweru asabye bannanyini mabbaala okufaayo okwerinda ekirwadde kya Covid saako n’okugoberera ebilagiro ebyatekebwawo ab’ebyobulamu baleme okusikiriza omukulembeze we Ggwanga okubazaayo ku muggalo.
Ategezezza nti okusinziira ku kunonyereza omuwendo gw’abantu abakola mu bifo ebisanyukirwamu ebitundu 95 ku buli 100 bonna abagemeddwa nga bakyabuzaayo batono nnyo, nga asuubira nti wiiki eno weneggwerako buli kimu kijja kuba bulungi.
Omuwandiisi ow’enkalakkalira mu Minisitule ye by’obulamu Diana Atwine olunaku lw’okusatu yategezezza nti, bannanyini bifo ebisanyukirwamu balina okulaba nga bateekawo embeera y’amabanga mu ngeri y’okutuuza abantu babwe okusobola okutangira ekilwadde okusasaana.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com