NGA ayita mu maanyi agamuwebwa Ssemateeka we Ggwanga okugaba ekisonyiwo eri abasibe, Pulezidenyi Yoweri Kguta Museveni asonyiye abasibe 79 basobole okudda mu maka gaabwe okusisinkana ab’enganda zaabwe.
Bano abali mu makkomera ag’enjawulo Museveni abasonyiye nga asinziira ku bulwadde bwe balina ate abalala abakwatiddwa kisa nga omuntu.
“Nga nsiziira mu maanyi agampeebwa Ssemateeka mu kawakatirwa 121(1) era nga ngoberera n’amagezi agampeereddwa akakiiko akawabuzi ku baani be nina okuwa ekisonyiwo, nsazeewo okusonyiwa abantu bano, okusinziira ku kiwandiiko kye yaewreza akulira amakkomera mu Ggwanga nga 3, January, 2022.
Ku basonyiddwa kuliko munnaNsi wa Venezuela saako ne offiisa wa UPDF James Awany nga ono abadde yakaligibwa mu kkomera e Luzira.
Mu mwaka gwa 2020 Pulezidenti Museveni yasonyiwa abasibe 833 okwetoloola e Ggwanga lyonna, nga agezaako okutaasa abaali mu makkomera obutakwatibwa kirwadde kya Covid oluvanyuama lw’okuba nti gaali gajjudde nnyo.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com