POLIISI ekutte Omukulu we ssomero lya New Crest Junior at Kibedi elisangibwa e Kawempe saako n’abala 3 nga ebalanga kulagajjala omuliro ne gukwata essomero ekyavuddeko abayizi 4 okufa mu kiro ekyakeesa olw’omukaaga
Abakwatiddwa era kuliko n’omusomresa eyalina obuvunanyizibwa obw’okuntikko okukuuma essomero n’abaana saako n’akulira ebisulo byonna (Wadeni)
Omwogezi wa Poliisi ye Ggwanga Fred Enanga bino abitegezezza bannamawulire ku mande, nagamba nti bano bonna baagala bayambeko Poliisi mu kunoonyereza kweriko ku kyavuddeko omuliro.
Enanga agambye nti ebiliwo bilaga nti waaliwo okulagajjara okuva ku bakulira essomero lino, nga ye nsonga lwaki omuliro gwagenda mu maaso ne gweyongera okutuuka okusaanyawo ekisulo kyonna.
Ategezezza Nti ekisulo kyali kijjudde nnyo, nga kyalimu abayizi 53 ne bitanda ebiliko binaabyo waggulu 3 ekitakkirizibwa mu mateeka ge bisulo nga ne nkuubo zaabyo zaali nfunda nnyo nga abayizi tebasobola kwetaasa singa omuliro guba gukutte.
Ekilala tewaaliwo yadde kyuma ekyeyambisibwa mu kuzikiza omuliro, ekyaviirako omuliro okweyongera olw’engoye n’emifaliso ebyali bijjudde ekisulo kyonna.
“ Okunonereza era kutulaze nti ekisenge kyali kitono nnyo nga ate era n’omukuumi wa bayizi muyite Metron naye mwe yali yebaka nga kyali kizibu nnyo okutaasa abayizi abamu ne basirikkira mu muliro n’abalala ne baziyira eky’abaviirako okufa” Enanga bwategezezza.
“Twaha Seruwu Omukulu we ssomero, Ahmed Sengooba omusomesa eyali alekeddwa mu buvunanyizibwa bw’okukuuma essomero saako ne Hamid Kabibi bo tubalina, ate nannyi ssomero Haji Abdu Kibedi n’akulira okulambula amassomero mu kibuga kye Kampala nabo bayitiddwa babitebye”
Akulira okulambula amassomero tumwetaaga atubuulire oba ddala essomero lino yalirambula n’akizuula nti nga lyali lituukirizza ebyetaago byonna okusobola okuggulawo okusomesa abayizi” Enanga bwategezezza.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com