OMULABIRIZI w’obulabirizi bwe Mukono Kitaffe mu Katonda James William Ssebaggala ebya Gavumenti okukkiriza abayizi abali embuto okudda mu massomero abigaanye mu massomero ge Kkanisa, agamba nti bamale kuzaala balyoke bakomewo nga abayizi sso ssi ng’abazadde.
Omulabirizi agamba nti kino akikoze mu bulabirizi obw’eMukono bwokka bwatwala, Oluvanyuma lw’okwefuumitiriza wamu n’olukiiko olutwala obulabirizi ne basalawo nti abaana abali embuto bonna basooke bazaale olwo badde ku massomero nga bwe kyalambikibwa Gavumenti.
Okwogera bino abadde asisinkanye bannamawulire mu offiisi ye ku mande, nga wano wasinzidde nategeeza nti bakilabye nga abayizi bano tebagenda kwetaaya bulungi ku massomero, nga batya okuyeyezebwa banaabwe, bayizi banaabwe okubalaba nga abantu abakulu, okutawanyizibwa obubonero bwa bakyala abali embuto omuli n’okusesema, okulwala lwala buli kadde ekiyinza okubaviirako okuyisibwa obubi nga bali ku massomero ne bilala.
Ono agamba nti tebanyomodde kiragiro kya Pulezidenti, kubanga nabo baagala abaana abo basome saako n’okufuna obulamu obweyagaza mu maaso nti kyokka bakilabye nga kijja kuba kizibu nnyo eri abayizi abo n’amassomero g’obukulisitaayo kwe kusalawo abaana abo basooke bamale okuzaala abaana babwe bakomewo basome tewali buzibu.
“Twagala abaana bano bwe bamala okuzaala basooke babulirirwe okusobola okukakkanya ebirowoozo byabwe, era tutaddewo ekitongole ekigenda okukola omulimu guno nga tebanadda mu bibiina kusomesebwa” Omulabirizi Ssebaggala bwagambye.
Ayongeddeko nti anakuwalira wamu n’abaana bano abakabasanyizibwa abasajja abatalina kisa eri abaana abato, nagamba nti nga ekkanisa bakivumirira.
Ekiragiro kino mu kiseera kino kimaze okutuuka mu buli ssomero ly’obulabirizi bwe Mukono, era abakulira amassomero gano basabiddwa okussa mu nkola okusalawo kw’olukiiko olw’okuntikko olw’obulabirizi.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com