Poliisi emaze okusunsulamu abantu 60 okuva ku basoba mu 300 be yayoola abagambibwa okubbira saako n’okutulugunya abantu ku luguudo lwa Northern Bypass.
Ku nkomerero ya ssabiiti ewedde Poliisi ye Ggwanga saako n’amaggye byakola ekikwekweto mubuna byalo ku luguudo lwa Northern Bypass saako ne byalo ebilinanyewo ne bakwata abantu abagambibwa okuba nti be beefudde ebbereje okukuba emmotoka amayinja ne kigendererwa eky’okunyaga abazivuga, saako n’okubba abayise abakozesa oluguudo olwo.
Kino kyaddirira amawulire okuyitingana ku mitimbagano nga galaga nti emmotoka nnyingi zikubibwa endabirwamu ne ziyiika nga abazikuba baba ne kigendererwa eky’okunyaga abagoba baazo, nga bano olumu batuusibwako ne bisago.
Omwogezi wa Poliisi ye Ggwanga Fred Enanga yategezezza bannamawulire e Naguru ku mande nti bano abasunsuddwa bagenda kubatwala mu kkooti bavunanibwe.
“Kuluno tugenda kugezaako okulaba nga emisango gyabwe gigobererwa bulungi mu kkooti baleme okuteebwa kubanga abantu beemulugunya nga batereddwa ate ne baddamu buto okujonyesa abayise mu bitundu bino.
Tugenda era kulekayo abakuuma ddembe abali mu ngoye za Maggye, Poliisi saako n’abali mu ngoye zaabulijjo okusobola okulaba nga tukakkanya obumenyi bwa mateeka mu kitundu kino” Enange bwe yategezezza.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com