Kkooti ye Makindye avuddeyo neewa ekiragiro eri buli alina omuwandiisi we Bitabo Kakwenza Rukira Bashaija okumuta amangu ddala awatali kakwakkulizo konna.
Omulamuzi wa kkooti ento Irene Nambatya yawadde ekiragiro kino nga 4.January. 2022, oluvanyuma lwa ba Puliida okuli Ero Kiiza, Luyimbaazi Nalukoola ne Samuel Wanda okwekubira enduulu eri kkooti nga bagamba nti baagala omuntu wabwe Rukira Bashaija ateebwe olw’okumala ebbanga eddene mu kaduukulu nga taleteddwa mu kkooti.
Omulamuzi Nambatya mu kiwandiiko kyafulumizza alagidde Poliisi ne bitongole bye by’okwerinda byonna okussa ekitiibwa mu kilagiro kyafulumizza saako n’okukiteeka mu nkola, era abalagidde obutabaako nnusu yonna gye basaba ku nsonga eno.
Kinajjukirwa nti Rukira Bashaija yakwatibwa ku nkomerero y’omwaka oguwedde natwalibwa mu kifo ekyekusifu kyokka oluvanyuma omwogezi we kitongole ekinonyereza ku misango Charles Twine yategeeza nti baali bamulina oluvanyuma lw’okukitegeera nti yali awandiise ebigambo ebityoboola ekifananyi kya Pulezidenti Museveni saako ne Mutabaniwe Muhoozi Kainerugaba omuduumizi we Ggye ly’okuttaka ku mikutu gye emigatta bantu.
Bino we bituukiddewo nga ne bitongole ebilwanirira eddembe ly’obuntu saako ne bannaMawulire babadde basaba okuteebwa kwa Kakwenza
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com