Omusumba Hannington Abraham Kakeeto akulira ekkanisa ya Devine Embassy Community Transformation esangibwa e Busiika mu Luwero agamba nti kyandibadde kilungi Katonda bwaba akuwadde embeera ennungi nawe n’ogabanako n’abateesobola.
“Tekiba kilungi gwe n’abomumakaago okulya ne munywa mu biseera bino eby’amazaalibwa ga mukama waffe, kyokka nga ebweru eyo eliyo abatafunye yadde kye bazza eri lubuto, Katonda atuwa nga atugezesa naffe tusobole Nate okuyambako abalala” bwatyo musumba Kakeeto bwe yayogedde bwe yabadde asisinkanye abaana abato, Abakyala saako n’abavubuka abawangalira mu kifo ekimanyiddwa nga Gawunye Fire Island mu Kibuga kye Mukono okusobola okubagabula ekijjulo Kya Kulismansi omwabadde okulya n’okunywa.
Yagambye nti ekifo kino yakizuula nga kirimu abaana abato bangi abatalina mwasirizi era nga ebitamiiza bye byafuuka emmere gye bali, kyagamba nti kyali Kya bulabe mu kiseera ekyo era nga tamanyi ddala wa watuufu wakubatandikira.
“Katonda yampa obuvumu ne nsobola okutandika okubatuukirira nga mpita mu bakulembeze baabwe era ne ntandika mpola okubabuulira enjiri ey’obulokozi basobole okukyuka badde eri Katonda saako nokwejjamu ebikolwa omuli okukozesa ebilagalalagala saako n’obubbi, kubanga basobolera ddala okufuna esuubi eppya nga abantu abalala bonna.
Ekisinga okunsanyusa kwe kuba nti ngabanako ne banange akatono ke nina nga ekkanisa saako n’abomumaka gange, ye nsonga lwaki olwaleero nzize wano nsobole okulya Kulisimansi n’abantu abatasobola kwetuusako kyakulya kirungi ku lunaku luno.
Nkubiriza abantu mwenna nga ddala Mukama akuwadde ku byobugagga bwe, okuvaayo okuyambako ku banaku, kubanga Katonda byonna bye tulina atuteresa buteresa bwayagala nga abitwala” Musumba Kakeeto bwe yagambye.
Ali Kateregga akulira abantu bano yagambye nti mu kifo kino bakuumirawo abaana bangi nga nabamu bazaliddwa awo, nagamba nti babadde basanyufu okulaba nga nabo waliwo ababafaako naddala mu biseera bino e yamazaalibwa.
Yagambye nti ekifo kino kimazeewo kati emyaka egisoba mu 15 nti nga ojeeko abapoliisi okubakwata nokubatulugunya babadde tebafunangako muntu abalowoozaako mu ngeri eyenjawulo nti kuba nabo Bantu abetaaga okubudabudibwa basobole okukyukira ddala.
Yakukkulumidde Gavumenti gye yagambye nti tebayambye ate nga baabatuukirira ne beekolamu ne bibiina saako nokuggulawo zi akawunti mu ma banka agenjawulo nga babasuubiza ensimbi ze myoga nti kyokka nokutuusa kati tebazifunanga, Kye yagambye nti kyabamalamu amaanyi.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com