AKAKIIKO ke by’okulonda kyadaaki kalangiridde Andrew Muwonge owa NRM ku buwanguzi bwe Ntebbe ya Disitulikiti ye Kayunga mu kulonda n’okugatta obulu okubadde okwa kasameeme.
Bino bibaddewo ku lw’okutaano ku makya, nga akulira eby’okulonda e Kayunga Jennifer Kyobutungi yalangiridde Muwonge n’obululu 31,830, ate Harriet Nakwedde Kafeero bwe babadde bali ku mbilanye naafuna 31,380 nga enjawulo ebadde ya bululu 450 bwokka.
Okulonda kuno era kwetabyemu n’abavuganyizza abalala okuli Majid Nnyanzi abadde ow’okusatu n’obululu 1297, Musisi Boniface Bandikubi 470, Jamil Kamoga 279 saako ne Wadimba Anthony owa DP 158.
Oluvanyuma lw’okuwangula Muwonge ayogeddeko eri abawagizi be ababadde bamulindiridde wabweru, nabebaza okumuwagira nasuubiza okukolera awamu ne bannaKayunga mu mbeera y’okwegattira awamu okusobola okutwala Kayunga mu maaso.
Alaze obwetaavu bw’okukomya entalo ze by’obufuzi e Kayunga, nagamba nti bannaKayunga balina kubeera muntu omu okusobola okukulakulana.
Wabula oluvanyuma lw’okulangirira Muwonge munne gwe bavuganyizza ennyo naye Harriet Nakwedde awakanyizza ebilangiriddwa, nagamba nti okugatta obululu kwetabiseemu vulugu mungi saako n’okugaana abantu be okuyingira mu kifo we bagattira.
“Tekisoboka kuba kituufu kino era siyinza kukkiriza buyaaye kika kino, okusinziira ku byaffe bye twagasse owa NRM tubadde tumusinga obululu 15000, wano waliwo ekitali kituufu, ebifo awalonderwa bingi bivuddemu obululu bungi okusinga ku balonzi” Nakwedde bwagambye.
Ono anokoddeyo akanyolagano akabaddewo ku nkya ya leero nga ab’ebyokwerinda beenyoola ne munnaNUP JohnMary Sebuufu nga ono agabeddwa mu kizimbe awabadde wagattirwa obululu oluvanyuma lw’okuwakanya ebibadde bisomebwa byagambye nti bibabade bifu.
Agambye nti kin o kilagidde ddala nti wabaddewo akakodyo kokwagala okuyisaawo Muwonge lwampaka era kye bakoze,
“Tugenda kub uulira abantu baffe kye tuzaako” Nakwedde bwagambye.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com