OMUKULEMBEZE we kisinde kya National Economic Empowerment Dialogue (NEED) Joseph Kabuleta alabudde abatuuze mu bitundu bye Bugisu okwewala okuteteza n’abali mu buyinza ab’efunyiridde okubba eby’obugagga ebisangibwa mu kitundu kino.
Ono nga yavuganyako ku kifo ky’obukulembeze bwe Ggwanga agamba nti abagisu era balina okwewala entekateeka za Gavumenti eziletebwa mu kitundu kyabwe, naye nga ekigendererwa kyazo kubalumya bwavu mu kifo ky’okubakulakulanya.
Okwogera bino Kabuleta yabadde asisinkanye bannaKisinde kya NEED kulw’okutaano abawangaalira mu bitundu bye Bugisu, mu kawefube gwalimu ow’okutalaaga e Ggwanga lyonna nga asomesa abantu ku ngeri gye bayinza okukozesa eby’obugagga ebisangibwa mu bitundu byabwe ne beekulakulanya.
Agamba nti abagisu bwe bataveeyo kwelwanako kulwanirira byabugagga byabwe ne babilekera abantu ab’olubatu abagagga abali mu Gavumenti bagenda kusigalira emabega ebbanga lyonna.
Yanyonyodde nti entekateeka za Gavumenti omuli emyoga, Bonna bagaggawale, Parish Model ne nendala zonna alaba zirina ekigendererwa eky’okuggya abantu ku mulamwa basobole obutaddamu kulowooza ku byabugagga ebisangibwa mu bitundu byabwe, kyagamba nti kyabulabe kubanga tebabifunamu yadde okujjako okubazza emabega.
“Kye kiseera mukomye okulimbibwa limbibwa ne ntekateeka za Gavumenti ezitagenda yadde okubayamba okujjako okubavuwaza, Uganda Nsi nnungi nnyo ate ngagga nnyo ebitagambika bye mulina okukozesa okwegobako obwavu ate nga biri mu bitundu byammwe” Kabuleta bwe yagambye.
Yanenyezza Gavumenti obutafaayo nga ebbeyi ye mwaanyi, songa abantu be Bugisu zino mwe bajjanga ensimbi ne bawerera abaana baabwe saako n’okubeera mu bulamu obweyagaza.
“Ekitundu kino kyalina emwanyi ezimanyiddwanga Arabic Coffee abantu mu kitundu kino mwe bayatikirira ennyo mu kulima, naye kati kyenyamiza okulaba nti abalimi baffe ate kati be basinga obwavu ekintu ekitali kilungi.
Kati ekigendererwa kyaffe nga NEED kwe kubazzaamu amaanyi musobole okukozesa ebilime byammwe ne ttaka okusobola okwekulakulanya” Kabuleta bwe yagambye.
Omukulembeze w’obuwangwa bwa Bagisu Umukuuka Jude Mike Modoma nga naye yetabye mu lukungaana luno, yasabye Gavumenti okussawo Minisitule ya Bagisu nga bwe kiri e Karamoja, kye yagambye nti kijja kuyamba nnyo okutuusa obuwereza mu bantu be Bugisu.
Mu mwezi gw’omwenda omwaka guno Kabuleta yatongoza ekisinde kya NEED ne kigendererwa eky’okuzaamu abantu amaanyi okusobola okutumbula eby’obugagga ebili mu bitundu byabwe saako n’okubikozesa okwekulakulanya.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com