MINISITA omubeezi owa Kampala Kabuye Kyofatogabye aweze okukwata abeeyita abakulembeze b’obutale abeefunyiridde okugereka saako n’okusasuza abasuubuuzi ensimbi z’empooza, songa omukulembeze we Ggwanga yasalawo byonna bisooke biyimirire.
Kino kiddiridde abasuubuzi mu katale e Nakasero okwekubira enduulu gyali nga bagamba nti waliwo ekibinja ky’abakanyama saako n’abakulembeze baabwe ababasaba ensimbi ze mpooza ku mpaka, ate nga zaali zaayimirizibwa Pulezidenti Museveni mu lukiiko olwatuuzibwa okusobola okumalawo endoolito mu butale bwe Kampala.
Abasuubuzi bagamba nti babadde bakyalinda okusalawo kwa bakulu, nti kyokka bagenze okulaba nga bakanyama bazze mu katale era ne batandika okubakaka okusasula ensimbi ku buwaze kye bagamba nti sikyabwenkanya nga omukulembeze we Ggwanga tanavaayo na nsalawo ye ku nsonga ze bamutwalira.
“Bnange twakoowa bakanyama mu butale ffe tuli basuubuzi sso ssi balwanyi, ensimbi ze batusaba nyingi tetuzisobola kubanga embeera mwe tukolera ennaku zino mbi nnyo Museveni vaayo otuyambe ku bantu bano” Abasuubuzi be Nakasero bwe balajanye.
Bino olugudde mu matu ga Minisita Kyofatogabye Kabuye n’awera okukwata buli yenna agenda mu maaso n’okuyisa olugaayu mu kilagiro kya Pulezidenti, era naasaba abasuubuzi ababadde bawaddeyo sente batwale lisiiti zaabwe ku Poliisi amangu ddala, baggulewo ne fayiro ebilala babimulekere.
“Sigenda kukkiriza muntu yenna atyoboola kiragiro kya mukulembeze wa Ggwanga kubanga yasalawo byonna bisooke biyimirire tumale okwetegereza buli kimu era nga n’abakola ebyo mu lukiiko baalimu, kati ndagidde Poliisi zonna okugenda mu butale bakwate buli asolooza ensimbi ku basuubuzi kubanga Pulezidenti yasembayo bwayisa ekiragiro teri alina kukiyisaamu maaso” Kyofatogabye bwagambye.
Kinajjukirwa nti gye buvuddeko waaliwo endoolito mu bukulembeze bw’obutale mu Kampala ekyaviirako omukulembeze we Ggwanga Yoweri Kaguta Museveni okuyita abakulembeze be njuyi zonna ezikaayana, ba Minisita n’omubaka wa Gavumenti mu Kampala, era ne kisalwawo nti bagira balindako okubaako kye bakola kyonna okutuusa nga ye kabwejumbira amaze okwekeneenya ensonga zonna oluvanyuma aveeyo n’okusalawo kwe.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com