Paul Mubiru omuvubuka eyalabikidde mu katambi nga atembeeya ensenene ku nnyonyi ya Uganda eyabadde egenda e Dubai ku lw’okutaano kyadaaki yakwatiddwa Poliisi ye ntambula ye nnyonyi.
Ono yakwatiddwa wamu ne munne eyakutte akatambi akafuuse ensonga Habib Kiggundu okusinziira ku mwogezi wa Poliis ye Ggwanga Fred Enanga.
Kino kyaddiridde Minisiter we nguudo ne ntambula Gen. Edward Katumba Wamala okulagira abakozi ku nnyonyi eyaliko ensenene okuyimirizibwa ku mirimu amangu ddala, nga agamba nti kino kyali tekikkirizibwa.
Enanga agamba nti ensenene ku nnyonyi teziganibwako, nti kyokka Mubiru ekikolwa kye yakoze eky’okuziretera mu ndagala n’atandika n’okuzigabulira ku nnyonyi tekikkirizibwa ye nsonga lwaki yakwatiddwa ne munne eyakwata akatambi nakasaasanya ku mitimbagano.
Yayongeddeko nti yadde abakozi mu nnyonyi baagezaako okugaana Mubiru okutembeyeza ensenene ze mu nnyonyi nti kyokka yagenda mu maaso naanyomoola ebilagiro byabwe, ekinti ekimenya amateeka ge nnyonyi saako n’okwogerera waggulu ate nga ne masiki zaabwe bazijjeeko ekintu ekyabadde eky’obulabe era ekiyinza okuviirako okusasaanya kw’obulwadde bwa Covid eri basabaze banaabwe.
Bano bagguddwako omusango gw’okufuuka ebyeneena (Public common nuisances) era nga bagenda kuvunanibwa mu mbuga z’amateeka.
Bino we bijjidde nga Mubiru yabadde akulubuuse ebbaluwa eri abakulira entambula ye nnyonyi mu Ggwanga nga yeetonda olw’ebyabadde ku nnyonyi byonna nga agamba nti yabadde asaaga, kyokka bino tebyalobedde Poliisi ya nnyonyi kugenda mu maaso ne mukwata ne munne Kiggundu
.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com