Ssentebe wa Disitulikiti ye Mukono Rev. Peter Bakaluba Mukasa atabukidde akulira abakozi mu Disitulikiti James Nkata saako n’akulira ebyamazzi Eng. James Kalule nga entabwe evudde ku byuma ebyagulibwa Disitulikiti ye Mukono okusima amazzi okusangibwa mu Wakiso nga emirimu bigikakkalabiza eyo.
Olunaku lw’omukaaga Ssentebe Bakaluba yatemezeddwako abazira kisa nga ebyuma ebisima amazzi ebya Disitulikiti bwe bilabiddwako mu bitundu bye Matugga mu Wakiso nga bisima Naikonto, songa mu kiseera ekyo byabadde bilina kuba mu bitundu bye Mpatta mu Mukono gye byali byatwalibwa okusimira abatuuze baayo amazzi amayonjo.
Amangu ago yasindise akulira eby’ensimbi ku lukiiko lwa Disitulikiti Samuel Odong eyagenze nakizuula nga ddala kyabadde kituufu, era byasangiddwa nga biyiikuula amazzi ag’obwannanyini mu bitundu bye Matugga olwo ne bikwatibwa ne bitwalibwa ku poliisi.
Ssentebe Bakaluba agambye nti enkola yabakozi ba Gavumenti naddala CAO ne Yinginiya wa mazzi tagitegeera nti kubanga ebyuma ebilina okukola amazii ga bannaMukono ate bikwatibwa bitya nga bikola e Kayunga ne Wakiso nga bannanyini byo bakaaba mazzi mayonjo, nawera okuttunka nabuli eyefunyiridde okukozesa ebintu bya Disitulikiti emirimu mu bukyamu.
Anyonyodde nti bwe baasanze abakozi abakola ku kyuma kino baabatotoledde ebizibu bye bayitamu nga bakola emirimu omuli n’obutasasulwa nsimbi za musaala okumala ebbanga eddene, nagamba nti wakufefetta buli kazambi afumbekedde mu kitongole kya Works e Mukono.
“Kyenyamiza nti ekyuma kino kyalina okusimira abantu be Mpatta ku kyalo Nakalanda amazzi amayonjo era, ne kitwalibwayo nga tumanyi nti abantu baffe baali baakufuna amazzi amayonjo, kyokka ne kikukusibwa ekiro ne kitwalibwa mu Disitulikiti ye Kayunga ne Wakiso gye kibadde kikola amazzi ag’abantu ba bulijjo.
Bino sigenda kubikkiriza kukola Mukono nga ndi Ssentebe era CAO ne Yinginiya mbayise ku mmande banyonyole ku nsonga zino, era batuwe ne mbalirira ya sente zonna ezibadde zikunganyizibwa kubanga tukizudde nti mpitirivu, bwe kibalema olunaku lwe nkya ensonga tugenda kuzongerayo wa Kalisiliiso wa Gavumenti omukono gwa mateeka gukole tukooye obubbi” Bakaluba bwe yagambye.
Yagaseeko nti agenda kutankuula ne kitongole ekikola emirimu (WORKS DEPARTMENT) kyagambye nti nakyo kifuuse kizibu nga abakozi ba Gavumenti bakola emirimu nga bwe bagaala saako n’okulwisaawo okuyisa zi Pulaani za mayumba ne kigendererwa eky’okusooka okusaba abantu enguzi okuziyisa kyagambye nti nakyo kikyamu.
Mu mwaka gwa 2012 Disitulikiti ye Mukono yagula ekyuma ekisima amazzi ku bukadde bwe nsimbi obusoba mu 500 ne kigendererwa eky’okufunira abatuuze amazzi amayonjo mu bitundu byabwe nga tebakalubiziddwa nnyo saako n’okweyazika olutatadde.
Wabula guno mulundi gwa 2 nga ebyuma bikwatibwa mu disitulikiti ye Wakiso nga n’ogwasooka kyaliwo mu mwaka gwa 2005 bwe kyasangibwa nga kisima Nnaikonto mu bitundu bye Nansana.
Kaewefube okufuna akulira abakozi saako ne Yinginiya wa mazzi agudde butaka olwa masimu gaabwe agamanyiddwa okuba nti tegabaddeko.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com