SHEIK Muhammad Galabuzi olunaku lwa Mande yalondeddwa okubeera Supreme Mufuti omuggya, nga ono kati yagenda okukulira abayisiraamu abakkiririza mu kiwayi kye Kibuli.
Galabuzi yazze mu bigere bya Sheik Siliman Kasule Ndirangwa eyalekulira Entebbe eno gye buvuddeko nga agamba nti yali akooye okuwereza abatasiima, nti era yali ayagala okuleka abayisiraamu nga bali bumu.
“Nze ndi muntu mutono nnyo obuyisiraamu bunsinga obunene, era nsazeewo ndekulire ekifo kino nga sikakiddwa ku lw’obulungi bw’obuyisiraamu” Bwatyo Sheik Ndilangwa bwe yayogera nga alekulira ekifo ky’obwa Supreme Mufti.
Galabuzi agenda kuyingira Offiisi mu butongole Sabiiti ejja, era nga agenda kumyukibwa Sheikh Ibrahim Ntanda ne Sheikh Mashed Kakooza.
Ono amanyiddwa nnyo okwewayo ennyo mu busiraamu saako n’okubuwereza mu buvunanyizibwa obutali bumu okugeza nga okusomesa mu matendekero g’obuyisiraamu ag’enjawulo.
Galabuzi munnaMukono omujjuvu, era nga yazaalibwa nga 10 October 1962 ku kyalo Bunyiri ekisangibwa mu Gombolola ye Kyampisi e Mukono mu Kyaggwe.
Bakadde be ye Sheik Shaban Kikomeko ne Nnyina ye Hajati Nagawa Kikomeko.
Ono era mukugu nnyo mu bye diini y’obuyisiraamu era nga ayise mu matendekero agamaanyi omuli Bilal Islamic Insititute ne Thanawi nga mukugu mu lulimi oluwarabu.
Ye nannyini Ttendekero lya Qurani e Kansanga era nga musomesa mu matendekero agawerako ag’obuyisiraamu.
Alina Abakyala 3 n’abaana abawerako.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com