MINISITA we nsonga z’omunda mu Ggwanga Gen. Kahinda Otafiire alaze obwetaavu eri aba Poliisi bonna mu Ggwanga okuddayo batendekebwe bupya, kyagamba nti kigenda kubayambako okumanya emirimu gyabwe gye baatendekebwa okukola.
Otafiire agamba nti abasilikale ba Poliisi enkola yabwe ey’emirimu ennaku zino yamunguuba nnyo, era nga bano balabika baava dda ku mulamwa nga buli omu akola bibye n’abalala bakola bibasanyusa mu kifo ky’okuwereza abantu nga bwe baatendekebwa.
“Abantu bano bansobedde kubanga enono ne bilagiro bye baatendekebwa mu matendekero ga Ppliisi gye baayita babisuula dda, nga kati bebasangibwa mu bubbi, emmundu bazikozesa bubi, beenyigira mu butemu, omwenge gwafuuka omwenge ne mize emilala mingi gye tutakyayinza kugumikiriza” Otafiire bwe yagambye.
Yategezezza nti agenda kuwandiikiria Ssabapoliisi we Ggwanga Okoth Ochola balabe bwe bagenda okukwata ensonga eno amangu ddala nti kubanga singa tebakikolako mangu ekifananyi kya Poliisi kigenda kwongera okwononeka.
bino we bijjidde nga aba poliisi bangi baakwatiddwa mu bunyazi obwenjawulo, abalala bakozesa bubi emmundu okuli okuzipangisa ababbi, okutemula baganzi baabwe nga babatebereza okuba abenzi, enguzi ne mize emilala mingi.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com