Eyesimbawo ku kifo ky’omukulembeze we Ggwanga Joseph Kabuleta era nga yakulembera ekisinde kya National Economic Empowerment Dialogue ( NEED) akunze bannabyabufuzi bonna abaagwa mu kalulu ka 2021 mu bitundu bya Bukedi okuvaayo n’amaanyi balwanirire eby’obugagga ebili mu bitundu byabwe, kyagamba nti kye kigenda okuyamba abantu ba bulijjo okubifunamu beekulakulanye.
Bwabadde ayogerako gye bali wakati mu kawefube gwe yatongoza gye buvuddeko mu lukiiko olw’etabyemu bannabyabufuzi abaagwa ku buli mutendera mu disitulikiti 7 saako n’amassaza 22 abasobye mu 120, Kabuleta agambye nti okunoonyereza kwalaga nti ekilombe kya Zaabu ekigenda okusinga obunene mu Ggwanga kyatongozebwa mu kitundu kye Busia era nga kigenda kufulumyanga ttani 1 buli lunaku okusinziira ku lupapula lwa New Vision olwafuluma nga ennaku z’omwezi 11th, 2012.
Agamba nti kyazuulibwa nti ttani obukadde 8.9 obwa zaabu bwe buli mu kitundu kino nga wano balina okuvaayo okulaba nga tebutwalibwa bantu be bbali bokka bafunemu nga ab’omukitundu beerya nkuta ku mimwa.
“Omuwendo gwa sente kilo ya Zaabu gw’egula kati ziri emitwalo 55,000 eza doola ya America ku katale ke Nsi yonna nga kitegeeza nti ekitundu kya Bukedi kiyinza okuva mu bwavu bwe kibaddemu singa bannanyini kyo balwanirira ebyabwe.
“Mulina okuzuukuka kubanga mwewunye lwaki ekitundu mwe muwangalira nga kirinaanye Kenya kibeera kyavu ekisukkiridde? Mulina omuceere, mulina ettaka eddungi, mulinaanye ennyanja Nalubaale kyokka buli kadde mwe muba musinga okuba ne njala n’obwavu” Kabuleta bwe yewunyizza.
Yabategezezza nti balina okuzuukuka bayimirire n’obuvumu balwanirire ettaka lyabwe eddene elitwaliddwa bannabyabufuzi abali mu bbo munda ne balyegabira oluvanyuma ne balifunamu nga abantu bokka n’abokka.
Mu mwezi gw’omwenda omwaka gunoKabuleta yatongoza ekisinde kya NEED ne kigendererwa eky’okukunga bannabyabufuzi abaagwa mu kalulu okuvaayo okulwanirira eby’obugagga ebisangibwa mu bitundu byabwe.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com