ABASILIKALE ba Poliisi zonna ez’etoolodde akatale ka Owino mu Kampala bakyusiddwa nga entabwe evudde ku buvuyo obuliwo ennaku zino saako n’okusika omuguwa ku ani alina okukulembera akatale.
Kino kidiridde Omukulembeze we ggawnga ku lw’okusatu okusisinkana abakulembeze be njuyi zombiriri ezisika omuguwa okuli olwa Suzan Kushaba saako n’olwa Nkajja Kayongo ne beeyogerera ebisongovu mu maaso g’omukulu nga buli lumu lulumiriza lunne waalwo okukozesa Poliisi okukwata abasuubuzi saako n’okubatulugunya.
Kushaba era yalumirizza abamu ku bakulembeze mu Kampala ne mu Poliisi okumusabanga ensimbi ze nguzi zaabaddenga abawereza kun kola eya Mobile Money ekintu ekyanyizizza Pulezidenti era olukiiko n’asooka naluyimiriza amale okwekkanya ensonga zonna.
Omuduumizi wa Poliisi mu Kampala ne miriraano Stephen Tanui bino naye olwamugudde mu matu nasalawo okukyusa mu bakulira Poliisi zonna okwetoloola akateale ka Owino.
Yagambye nti ekimu ku bye yazudde kwabaddeko okuba nti bano babadde bamazeewo ebbanga ddene nga n’abamu bafuuka basuubuzi baamukatale ekikontana ne mirimu gyabwe.
Yagambye nti bano era akizudde nti babadde baafuna oludda buli omu lwawagira mu katale nga kati kyetaagisa okuteekayo abantu abapya abatalina ludda basobole okukuuma obbutebenkevu.
Amyuka Omwogezi wa Poliisi mu Kampala ne miriraano Luke Oweyesigyire bwatuukiriddwa ku nsonga eno agambye nti enkyukakyuka mu Poliisi z’abulijjo era nga tewali mupoliisi wa Ggwanga atakyusibwa kubanga emirimu gyabwe emikulu kukuuma bantu n’abintu byabwe saako n’okukwasisa amateeka ne bilagiro buli gye baba batwaliddwa okukola.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com