AMYUKA omukubiriza w’olukiiko lwe Ggwanga olukulu Anita Among ayongedde okuvaamu omwansi n’akiggumiza nga bwatagenda kuddamu kukkiriza Babaka saako n’abagenyi bonna abatali bageme kilwadde kya Covid 19 kwesolossa kizimbe kya Palimenti.
Bwe yabadde akubiriza olutuula lwa Palimenti ku lw’okubiri Among yategezezza nti Ababaka balina okuba ekyokulabirako eri abantu abalala naddala ku bikwata ku kirwadde kya Covid nga batuusa amawulire ku bantu saako n’okubakunga okwegemesa ate nga bbo be basoose.
“Tulina n’okulondoola eby’okugema ne ddagala mu bitundu gye tukiikirira, kubanga twetaaga abantu abalamu abanatulonda nga tuzzeeyo kwesimbawo” Among bwe yagambye.
Kino kyadiridde ekilagiro ky’amyuka Sipiika nga 28 October omwaka guno, nga alagira ababaka bonna okusooka okulagayo ebipalati kwe babagemera balyoke beesogge ekizimbe omutuula olukiiko lwe Ggwanga olukulu.
Yanyonyodde nti yadde nga Kilaaka wa Palimenti yawandiikira ababaka nga aggumiza eky’okwegemesa nti kyokka ekimwewunyisa abamu kubo baaganira ddala, era nagamba nti aliko n’omubaka gwe yalemesezza okuyingira offiisi ye lwakubulwa biwandiiko bilaga nti yagemebwa.
Abantu abamu ne bannabyabufuzi bagamba nti tekiri mu mateeka okukaka omuntu okwegemesa endadde yonna kyokka Among agamba nti ne Ssabawolereza wa Gavumenti yavuddeyo nawagira ekilagiro kye ku kwegemesa
.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com