SSABAMINISITA Robina Nabbanja avuddeyo nayanukula Minisita avunanyizibwa ku bigwa bitalaze ne bibamba Eng. Hilary Onek ku bigambo bye yayogedde nga agamba nti tamulabawo saako n’okukola emirimu gye nga tamutegezezaako.
Nabbanja agamba nti bwe yayingira offiisi nga yakalondebwa yali akolagana bulungi ne munne Onek, nti kyokka okuva lwe yasalawo okugoba abakungu abaakola ku kugula ebintu ebitaali ku mutindo ebyawerezebwa mu bitundu bye Kasese munne Onek yakyukira ddala.
Agambye nti onek buli lwabaddenga akyalako mu offiisi ye nga amusaba kuzza basajja be abalyake mu offiisi kyagambye nti ezo ensonga takyazirinako buvunanyizibwa okujjako omukulembeze we Ggwanga.
“Nze ensonga za basajja ba Onek Nazitwala wa mukulembeze wa Ggwanga, mu mbeera eyo silina kye nnyinza kumuyamba kilabika kye kyamunyiiza naaba nga takyandaba bulungi, naye nze silina ttabu yonna era nkola mirimu gyange egyankwasibwa bannaUganda” Nabbanja bwe yategezezza.
Minisita Onek eyabadde omukambwe yalangidde mukamaawe Nabbanja okumuyisaamu amaaso saako n’okwagala okutwala emirimu gye songa yamusanga Minisita era nga akola emirimu watali kutataganyizibwa kwonna.
Ono era yagambye nti Nabbanja atambula okwetoloola e Ggwanga naakola ne mirimu egigwa mu offiisi ye nga tamutegezezaako kyagamba nti kikyamu.
Yagasseko nti Ssabaminisita akozesa abantu abali wansi naabakozesa okusalawo ku by’okukola bagamba nti baba tebalina buyinza kusalawo kintu kyonna nga tebamaze kwebuuza ku bakama baabwe.
” Emirimu gyonna gye nakolanga omuli okugaba ebintu wagitwala, wayimiriza abakozi ku mirimu nga tomaze kukola kunonyereza kwonna nga ogamba nti bafiiriza e Ggwanga ensimbi nnyingi nnyo nga ate walina kusooka omulimu ogwo kugulekera omubalirizi we bitabo bya Gavumenti akuwabule kyotakola!” Onek bwe yagambye.
Ennaku zino abakulu bombiririr tebakyalima kambugu era nga ne nkiiko ezimu Ssabaminisita zaayita mu Offiisi ye Eng Hillary Onek Tajja.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com