OMWOGEZI we kibiina kya National Unity Platform Joel Senyonyi alidde mu ttama nategeeza nti baagala ab’ebitongole bye by’okwerinda bonna okukola okunonyereza saako n’okukwata abo abaateze bbomu eyattiddewo omuntu saako n’okulumya abangi e Komamboga mu Kampala.
Agamba nti kuluno baagala okulaba nga wabaawo ekyamangu ekikolebwa ate mu lwatu bannaUganda bonna bamanye abantu abaagala okumalawo obulamu bwabwe.
Okwogera bino abadde mu lukungaana lwa bannamawulire olw’ekibiina e Kamwookya, ku byabaddewo ku lunaku lw’omukaaga ekiro mu kifo ekimanyiddwanga Digida Pork Joint e Komamboga mu Kawempe Kampala.
Ategezezza nti nga ab’ekibiina ekiri ku ludda oluvuganya Gavumenti baanyoleddwa wamu n’abantu abaakoseddwa mu bulumbaganyi buno, kyokka naasaba abakola kukunonyereza okuvaayo amangu ddala banyonyole baani abali emabega w’okutega bbommu bannnaUganda.
“Naffe twagala okulaba nga abantu abaagala okutta bannaUganda bonna bakwatibwa kubanga twagala emirembe mu Ggwanga lyaffe” Senyonyi bwe yagambye.
Bino we bijjidde nga akabinja k’abakambwe ba Islamic State kaavuddeyo akawungeezi ka Sande ne kewaana nga bwe kaabadde emabega w’obulumbaganyi buno.
Omuntu omu ye yafiiriddewo ate abangi ne bagenda ne bisago mu kiseera kino bali mu malwaliro bajjanjabibwa
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com