AB’EBYOKWERINDA mu Ggwanga banoonya abantu 3 abateberezebwa okuba nti be beetabye mu by’okutega bbomu eyatulikidde mu kifo ekitundilwamu ennyama ye mbizzi e Komamboga e akawempe Kampala omwafiiridde omuntu omu saako n’abangi okugendera ku bisago.
Omwogezi wa Poliisi Fred Enanga agamba nti 3 bano basoose ne beefuula abazze okunywa omwenge, nti era baabadde n’ekintu mu kaveera kye baasudde wansi we meeza kwe baabadde banywera omwenge era mu ddakiika ntono nnyo baabuzeewo okuva mu kifo ekyo ekiteberezebwa okuba nti baabadde n’omupango ogw’okusaanyawo obulamu bwabantu.
Agamba nti Poliisi yazudde ebintu ebikozesebwa mu kukola bbomu omuli emisumaali, amasasi ge gaali saako n’ebyuma ebyoogi ennyo ebisobola okuyingira mu mubiri gw’omuntu n’akosebwa.
Poliisi era esazeeko ekifo kino n’obugazi bwa kilo mita 2 okusobola okuzuulira ddala obujulizi saako nebyabadde mu kifo ekyo okumala ebbanga lya ssawa 6 nga tewali akkirizibwa kuyitayo.
Abakambwe b’akabinja ka Islamic State leero nabo bavuddeyo ne beewana nti beebakoze obulumbaganyi buno, nga obubaka baabutadde ku mukutu gwa affiliated Telegram channel ku Sande akawungeezi.
Okusinziira ku mukutu gwa mawulire ogwa Reuters gw’ategezezza nti abakambwe okukola kino baabadde bapimye basaanyewo abamu ku bakulu mu Gavumenti ya Uganda nti kubanga babadde bamanyi nti buli kawungeezi babeera mu kifo ekyo nga badigida.
Omukulembeze we Ggwanga Yoweri Kaguta Museveni yaweze okuttunka ne beyayise embizzi ezaagala okusanyawo obulamu bwa bannaUganda, nagamba nti bagenda kukwata omu kwomu banyonyole ani abatuma ne bwanaba mu Ggwanga munda oba wabweru.
Emily Nyiraneeza omu ku bawala ababadde abakozi mu kifi kino yeyafiiriddewo ate abantu abalala ne bagendera ku bisago ebyamaanyi nga kati bajjanjabibwa mu malwariro ag’enjawulo.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com