DAVID Ssali 46 omupoliisi ali ku ddaala lya Kkopolo eggulo lwe yakitegedde nti ayolekedde okula emyaka 20 mu kkomera, oluvanyuma lw’okusingisibwa omusango gw’okutta Ronald Sebulime 40 eyali agambibwa okulondoola eyali Minisita Aidaha Nantaba.
Sali ono omutuuze we Namungoona mu Kampala, yakkirizza omusango gw’okutta omuvubuka Sebulime eyali avuga Pikipiki nga bino byonna byaliwo mu kabuga ke Nagojje mu Mukono nga 24 ogw’okusatu 2019.
Bino byonna byaliwo oluvanyuma lwabasilikale ba Poliisi abaali baduumirwa Ssali okuzingiza Sebulime ne bamukwata era nassibwa ku mpingu, kyokka oluvanyuma Ssali nalagira Sebulime agibwe ku kabangali ya Poliisi era namwekubira amasasi ekyaletawo okukubagana empawa okuva mu baselikale banne.
Byonna nga tebinabaawo Minisita Nantaba yali amaze okutemmya ku Poliisi ye Naggalama nga bwe waliwo omuntu amulondoola eyali ku Pikipiki ekika kya Suzuki nnamba UDC 882A, nga wano abakulira poliisi ye Naggalama baasalawo okutuma Ssali ne banne balabe ekigenda mu maaso.
Wano ne Minisita Nantaba yagenda alabe ekyali kigenda mu maaso saako n’okulaba ani abadde amulondoola, wabula bagenda okutuuka e Nagojje nga Sebulime attiddwa.
Wano Poliisi yakwata Ssali era natwalibwa mu kkooti e Mukono nga 11.04.2019.
Omulamuzi Henry Kaweesa yeyasingisizza Ssali omusango gw’obutemu
.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com