ABAKULEMBEZE b’eKibuga Kampala abaggya abakalondebwa bafunyemu ekitengo olw’emisaala emisava abakozi b’ekitongole ekiddukanya ekibuga ki KCCA gye bafuna.
Bagamba nti ensimbi zino nnyingi nnyo eziyinza okuviirako entambula y’emirimu mu kibuga okukeewa, olw’okusasula abakozi saako n’okwongeza emisolo ku bannaKampala okukkakkana nga abakolerayo bakolerera mmere na ntambula.
Kkansala Moses Kataabu bwabadde ayogerako eri e Ggwanga ku BBS Terefayina mu pulogulaamu Kulakulanya ekibuga agambye nti, okuva ekitongole ekiddukanya ekibuga bwe kyagunjizibwawo ne kifuulibwa Capital City Authority abakozi bonna bayongezebwa ensimbi nti era nga oggyeko emisaala emisava ekisukkiridde wabula bafuna ne nsimbi endala okuli ez’amafuta saako ne mmotoka zi Kapyata ezibasobozesa okukola emirimu mu Kibuga.
Alaze nti Dayirector ow’okuntikko afuna omusaala ogusukka mu Bukadde 45 buli mwezi nga tekuli z’amafuta ne kalonda omulala yenna, Amumyuka annyuka na bukadde 35 ne mmotoka ne bialala byonna.
Akinoganyizza nti ba Dayirekita abakulira ebitongole bafuna obukadde bwa Uganda 25 be ddu, nga kuno kwe babagattira emmotoka kapyata saako n’amafuta nga gategerekeka bulungi.
Bamaneja b’ebitongole bano bbo banyuka buli mwezi n’obukadde 15 okutali mafuta ne mmotoka, saako nababaddirira omuli ab’obukadde 10, 9, 8 nabalala okutuuka wansi.
Kataabu agamba nti ensimbi zino tezandibadde n’amutawaana nti naye balaba nti oba oli awo ziyinza okukosa entambula ye mirimu mu Kampala okugeza nga okuyoola kasasiro, okugogola emyala, okwongeza abasuubuzi ensimbi ze misolo ne bialala.
Ebitongole bya Gavumenti byawebwa olukusa okwegerekera emisaala gy’abakozi baabwe gye bafuna
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com