BANNAUGANDA abakolera emirimu gyabwe mu Ggwanga lya South Sudan emitima gibazze mu nteeko oluvanyuma lwa Mawanga g’ombiriri okutuuka ku nzikiriziganya ne bajjawo enkola ey’okusooka okumala okufuna VISA okuyingira e South Sudan.
Kati abasuubuzi n’abantu abalala bonna bagendanga kulagayo Ndagamuntu ya Uganda yokka olwo bakkirizibwe okutambula nga teri kukubwa ku mukono.
Kino kigenda kwongera okutumbula enkolagana wakati wa Mawanga gombiriri, saako ne by’ensuubulagana okweyongeramu amaanyi kubanga abasuubuzi kigendanga kubanguyira okuyingira e South Sudan saako n’okufuluma okusinziira ku Minisita omubeezi ow’ensonga zebweru ne nkolagana yamawanga agatulinanye John Mulimba.
Emyaka egiyise bannaUganda abakolera e Southern Sudan saako n’abasuubulirayo babadde beemulugunya olw’embeera gye bayisibwamu nga bakola emirimu gyabwe, kye bagamba nti kati kigenda kutereera bakole emirimu nga tebatataaganyiziddwa.
Bayron Kinene Ssentebe wa basuubuzi abakolera e Southern Sudana agambye nti enkola eno egenda kubayamba nyo kubanga luli babadde babonabona n’okufuna Visa okuyingira e Sudan nti kyokka kati basuubira nti bigenda kwanguwako.
Omukulembeze we Ggwanga Yoweri Kaguta Museveni saako ne munne owa South Sudan Salva Kiir Mayaditi gye buvuddeko bakkiriziganya ku nkola eno era ne bateeka ne mikono ku ndagaano ye byensubulagana mu mawanga gombiriri.
Enkola eno yatandise nga 1 ogw’ekkumi omwaka guno.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com