MINISITA omubeezi owa mazzi Aisha Sekindi era nga ye mubaka omukyala owe Kalungu avudde mu mbeera natabukira abakulira akakiiko ke by’ettaka mu Disitulikiti ye Kalungu nga entabwe eva ku bakulu bano okugabira abagagga ettaka lya Gavumenti eliweza yiika 230 okudde abatuuze mu bitundu bye Lwabenge.
Gye buvuddeko abatuuze beekubira enduulu eri Minisita Sekindi saako ne RDC we Kalungu Caleb Tukaikiriza, nga bagamba nti waliwo abagagga ab’efunyiridde okukuba empenda mu ttaka kwe bawangalidde emyaka ne myaka kyokka nga tebabamanyiiko yadde.
Bateegeeza nti bwe baakizuula nti ettaka lino lyali lya Gavumenti baasalawo okutuukirira akakiiko ke bya ttaka e Kalungu era ne bayita mu mitendera egiyiyibwamu okusaba ettaka lya Gavumenti nti kyokka kyabewunyisa nga bbo tebalibawadde wabula nga abakulira akakiiko basazeewo kuligabira bagagga abagambibwa nti bandiba nga baawayo ensimbi nnyingi okusobola okubawangula.
Minisita Sekindi bwe yabadde ayogerako eri abatuuze yagambye nti bino tagenda kubikkiriza ebyakolebwa akakiiko ke bye ttaka, nagamba nti agenda kulaba nga akola ekisoboka ebyapa ebyakolebwa bisazibwemu.
“Kikafuuwe nze okukkiriza okusengula abantu bange era ngenda kukola ekisoboka okusooka tuteekeko kaveeti naffe ettaka lino tulisibe wabeewo enkola ennungamu omugenda okuyita okutereza ettaka lyammwe” Sekindi bwe yagambye.
Omubaka wa Gavumenti e Kalungu Caleb Tukaikiriza yagambye nti bulijjo ayita abagambibwa okufuna ettaka lino kyokka nga tebalabikako nalagira Poliisi ye Lwabenge obutaddamu kukkiriza muntu yenna kugenda ku ttaka lino nga talina kiwandiiko kiva mu offiisi ye.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com