OMUBAKA wa Kawempe North Muhammad Segiriinya yadde nga yawebwa omukisa okweyimirirwa okuva mu kkomera e Kigo gye yasindikibwa gyebuvuddeko, n’okutuusa kati akyalemeddeyo olwa Mubaka munne owa Mityana Municipality Francis Zaake okubulawo ku lunaku lw’okumuta.
Kinajjukirwa nti Omulamuzi wa kkooti enkulu Victoria Nakintu Katamba nga 20, 09, 2021 yakkiriza okusaba kwa Babaka Segiriinya Muhammad saako ne Allan Sewanyana okuteebwa ku kakalu ka kkooti nga okunonyereza ku misango gy’obutemu n’obutujju gye bagambibwa okuzza mu bitundu bye Masaka nga kuwedde.
Wabula amawulire g’okweyimirirwa nga gamaze okufuluma, Omubaka zaake yali omu ku baasalawo okweyimirira Mubaka munne Segiriinya era nakakasa nti ebyali bisabiddwa byonna mu kkooti yali wa kubituukiriza, wabula omulamuzi bwe yabayise ku lw’okuna okuteeka emikono ku mpapula Puliida wa Segiriinya Erias Lukwago yakanze kumagamaga Zaake nga tamulabako.
Lukwago yagambye nti yagezezaako okunyonyola omulamuzi bakolemu ku nkyukakyuka mu bantu abeyimirira Segiriinya era nga mu kiseera ekyo omubaka omukyala owa Mityana Joyce Bagaala yabadde yewaddeyo okutaasa Segiriinya nti kyokka omulamuzi nabategeeza nti balina okusooka okukola okusaba okukyuKigambibwa nti Omuka Zaake ali wabweru wa Ggwanga nga mu kiseera kino tasobola kutuuka mu budde kweyimirira Segiriinya nga ye nsonga lwaki akyasigadde mu kkomera e Kigo.sa mu bagenda okweyimirira mu buwandiike, ekitaabadde kyangu mu kiseera ekyo.
“Banange tulina okulindako kubanga omulamuzi agambye okusaba kulina kukolebwa mu mateeka, naye ekilungi akitegdde era nakkiriza Segiriinya ajja kuvaayo enkya” Lukwago bwe yategezezza abaabaddewo.
Wabula nga ye Sewanyana yakateebwa ate walabiseewo emmotoka ekika kya Drone eyazze nga elimu abakuumaddembe ne bamuwamba era natwalibwa mu kifo ekitanategerekeka.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com