GEOFFREY Oloya nga ono ye musajja eyasookera ddala okufuna ku nsimbi emitwalo 100,000 Gavumenti ze yateekawo ez’okweddabulula olw’ekirwadde kya Covid 19 akwatiddwa.
Oloya nga ono SsabaMinisita Nabbanja yamukubira essimu nga Ensi yonna ewulira, era ne yeyita owa Boda boda mu kibuga kye Gulu agombeddwamu obwala ababaka abali ku kakiiko akanonyereza ku nsasanya ye nsimbi y’omuwi w’omusolo mu Gavumenti ez’ebitundu akakulirwa Omubaka Ojala Martin Mapinduuzi.
Gye buvuddeko ababaka bwe baali mu kunoonyereza ku nsimbi zino baakizuula nti omuntu eyakubirwa essimu eyasooka era naasanyukira waggulu ennyo teyali mufuna mpola nga bwe kyali kilambikiddwa mu bantu abaalina okufuna ku nsimbi ezaakazibwako eza Nabbanja.
Kyazuulibwa nti Oloya ono yali mukozi wa Gavumenti mu Kibuga kye Gulu era nga Muyambi wa Meeya mu kibuga kino ekyatabula ababaka ne basalawo okulagira abaali baakola mu kuwandiisa abantu e Gulu okukwatibwa era ne bagibwako sitatimenti.
Kino era kyawaliriza ababaka okuyita Oloya anyonyole engeri gye yeyitamu omugoba wa Boda, era nagenda mu maaso naafuna ku nsimbi za bawejjere, enkya y’olwokubiri kyakoze era ababaka ne balagira asooke akwatibwe.
Abakulira abagoba ba Boda boda mu kibuga Gulu baategeeza abaali banonyereza ku nsimbi zino nti omuntu amanyiddwa nga Geoffrey Oloya baali tebamumanyi, nga nabangi kubo bagamba nti tebaafuna yadde ku kasente ka Nabbanja.
Ono alagiddwa okukola sitatimenti ku Poliisi oluvanyuma basalewo oba bamuta oba agenda mu kkooti abitebye.
Akakiiko era kakizudde nti ensimbi ezaali ez’okuweebwa abawejjere zaafunibwako n’abakungu mu Gulu omuli ba Ssentebe ba magombolola, ba Meeya, Abakozi ba Gavumenti n’abamu ku bagagga mu kitundu kino
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com