KKOOTI enkulu mu Kampala etadde akaseko ku matama g’omubaka wa Kawempe North Muhammad Segiriinya, oluvanyuama lw’okugoba omusango ogw’amuwabirwa munne bwe baavuganya Sulaiman Kidandala, nga amulanga obutaba n’abiwandiiko bya buyigirize.
Kkooti era enywezezza obuwanguzi bwa Segiriinya nga omubaka wa Kawempe nga yesigamye ku kuba nti omuwaabi yalemwa okuwa omuwawabirwa empapula eziraga nti alina omusango mu kkooti, bwatyo omulamuzi nasalawo nti omusango gugaanye okuyimirirawo olwa Segiriinya obutamanyako nti ddala yawawabirwa.
Kitegerekese nti mu kiseera Kidandala we yayagalira okuwa Segiriinya empapula za kkooti, yali mu kkomera e Kitalya, nga eno ba puliida ba Kidandala baalemwa okussaayo empapula ezilaga nti baali bamukubye mu mbuga z’amateeka, era nga okusinziira ku nsalawo y’omulamuzi Henrietta Waloyo alaze nti yadde abakulira ekkomera lye Kitalya tebalina lupapula lwonna lwe baafuna ku lw’omusibe waabwe Segiriinya.
Bino we bijjidde nga ne ba Puliida ba kakiiko ke by’okulonda nabo baali baasaba dda kkooti egobe omusango gwa Kidandala, nga bagamba nti omuntu waabwe yali teyamanyisibwako ku byakuwawabirwa.
Wabula ba Puliida ba Kidandala baategeza kkooti nti bwe batuuka mu kkomera e Kitalya Segiriinya gye yali asibiddwa yagaana okukwata empapula za kkooti mu bugenderevu, kyokka nga balemerako nti ddala yamanya nti yawawabirwa.
Olwaleero Omulamuzi Waloyo asazeewo nti tewali bujulizi bulaga nti ddala Segiriinya yamanyisibwako ba puliida ba Kidandala nti yawawabirwa nga amateeka agafuga e Ggwanga Uganda bwe gagamba.
Ayongeddeko nti ba Puliida ba Kidandala baalina okukwasa Segiriinya empapula za Kkooti mu buntu, nga bwe balemererwa baalina okuzikwasa akulira ekkomera lye Kitalya naziteeka ku lubaawo okulangibwa ebilango mu kkomera kye batakola, nga omusango tegusobola kuyimirira nga omuwawabirwa teyamanya nti alina okubaako byaddamu ku kkooti, bwatyo nalangirira Segiriinya ku bubaka bwa Kawempe North.
Mu kulonda okwaliwo mu January w’omwaka guno Kidandala yafuna obululu 7,512 ate Segiriinya naafuna 41,197.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com