KKOOTI enkulu e Mukono etaddewo ennaku kwegenda okuwulirizaako emisango egy’awawabirwa ababaka mu kitundu kya Mukono eyawamu.
Mukono yakutulwamu Disitulikiti endala 3 okuli Kayunga, Buvuma ne Buikwe.
Gye buvuddeko essiga eddamuzi lyateekawo kkooti enkulu e Mukono, oluvanyuma lw’okusaba kwa bantu abaali batambula olugendo oluwanvu okugenda mu bitundu bye Jinja gyeyatuulanga.
Amyuka omuwandiisi wa kkoti enkulu e Mukono mu biwandiiko bye yafulumizza ku lw’okubiri yategezezza nti abawawabirwa, abawabi saako ne ba Puliida baabwe balina okubeera mu kkooti ku lunaku olubawereddwa saaako ne ssawa, nga atakituukirize kkooti yakugenda mu maaso ewe ensalawo yaayo nga bweneba elabye.
Emisango 7 gye gigenda okuwulirwa okusinziira ku bantu abenjawulo abawawabirwa.
Ekyewunyisa eyali Ssentebe we Kayunga eyafa gye buvuddeko Ffeffekka Serubogo naye y’omu ku bantu be bawawabira mu kkooti nga ono munne owa NRM gwe yavuganya naye Bonifance Musisi Bandikubi yeyamutwalayo nga awakanya obuwanguzi bwe.
Aidah Erios Nantaba naye abantu 3 beyavuganya nabo ku kifo ky’omubaka omukyala owa Disitulikiti ye Kayunga bonna bamutwala mu kkooti nga bagamba nti obuwanguzi bwe bwalimu ebilumira.
Bano kuliko Harriet Nakwedde, Birungi Kobusingye Jackline saako ne Nabadda Ritah nga bonna emisango gyabwe gyakuwulirwa nga 16 omwezi guno.
Wilson Male owa NUP naye yatwala omubaka Fred Kayondo munnaDP mu kkooti saako n’akakiiko ke by’okulonda nga awakanya obuwanguzi bwe ku kifo ky’omubaka owa Mukono South, bano omusango gwabwe gwakuwulirwa nga 17.
Maitiki Ronald Mukasa owa NRM naye yawawabira munnaNUP Tebandeke Charles eyawangula mu Ssaza lye Bbaale mu Kayunga, guno gwakuwulirwa nga 17.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com