EBIGEZO bye kibiina eky’okuna ebya 2020 mu kiseera kino byonna biwedde okutekebwateekebwa era nga ekirindiriddwa kubifulumya mu butongole.
Bino bikakasiddwa omwogezi wa Minisitule ye byenjigiriza ne Mizannyo Patrick Muyinda.
Muyinda agamba nti entekateeka zonna zimaze okujibwako engalo era nga ku lunaku lw’okusatu abakulu mu kitongole kye Bigezo UNEB bagenda kwegeyamu ne Minisita we by’enjigiriza Janet Kataha Museveni ku mbeera yonna, olwo ku lunaku lw’okutaano nga 30 bifulumizibwe mu butongole eri e Ggwanga lyonna, abazadde saako n’abayizi.
Ab’ekitongole kye bigezo saako n’abakungu abalala abanaaba bayitiddwa okwetaba ku mukolo ogwo maka g’omukulembeze we Ggwanga Entebbe, bonna basabiddwa okugoberera amateeka g’abebyobulamu agakwata ku kirwadde kya Covid 19.
Abayizi n’abazadde ebigezo bagenda kubifunira ku masimu gaabwe nga bayita mu bubaka.
Okusinziira ku UNEB omuwendo gw’abayizi 333,889 be bewandiisa okutuula ebigezo mu mwaka gwa 2020 mu bifo 3,935 okwetoloola e Ggwanga lyonna.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com