POLIISI mu Kampala esazeewo okuyita bazadde b’abaana 14 abaazuuliddwa mu kiyumba ekimu e Muyenga mu Makindye, bajje n’obukakafu obulaga nti bebalina obuvunanyizibwa ku bo babatwale.
Kino kiddiridde okunonyereza kwa Poliisi okulaga nti omukyala Dorothy Ndagire 27, omutuuze we Kawala mu Lubaga nti yabadde emabega w’okusolooza abaana bano okuva mu bazadde baabwe ne kigendererwa eky’okubayamba, kyokka bwamala okubafuna nga asalako empuliziganya n’abazadde, nga atandika okubayigiriza ebikolwa eby’obuseegu.
Kitegerekese nti Ndagire abadde yagunjaawo ekitongole ky’obwanakyewa ekimanyiddwanga Maya Project Uganda Chapter, ekitali kiwandiise mu mateeka n’ekitongole ekifuga ebitongole by’obwanakyewa mu Ggwanga okusinziira ku kunonyereza kwa Poliisi.
Era kyazuuliddwa nti Ndagire abadde amaze akabanga nga akolagana ne bitongole ebitumbula obuseegu ebisangibwa e London mu Bungereza, nga eno gy’abadde ajja ensimbi eziyimirizaawo emirimu gye mu Uganda.
Amyuka Omwogezi wa Poliisi mu Kampala ne miriraano Luke Oweyesigyire mu kiwandiiko kye yafulumizza ku lw’omukaaga agamba nti abaana abasangiddwa mu kiyumba baabadde wakati wa myaka 4-19 nga bano kigambibwa nti baabadde bagenda kukukusibwa Ndagire batwalibwe ebweru we Ggwanga.
Yagambye nti mu kiseera kino bagezaako okulondoola balabe abaana bano gye bajjibwa saako ne bazadde baabwe basobole okubazaayo mu maka gye baava.
“Omuzadde yenna eyakolaganako ne Ndagire n’amuwa omwana nga yeyagalidde oba nga yakakibwa bukakibwa jjangu ku Poliisi ye Kabalagala tulabe bw’oddizibwa omwana wo nga okunonyereza bwe kugenda mu maaso okumanya ebigendererwa ebituufu okuva ku Ndagire.
Abaana mu kiseera kino baliko amaka agalabirira abaana gye bakuumirwa.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com