ABABAKA ba Palimenti ennaku zino batuula bufofofo nga beebuuza ekituufu ekyatuuka ku mukubiriza w’olukiiko lwe Ggwanga olukulu omuggya Jacob Oulanya eyafuluma mu Ggwanga gye buvuddeko nga yakamala okulondebwa mu kifo ekyo biki ebituufu ebimukwatako.
Abasinga ku bano batera okulabwako mu nkuubo za Palimenti nga beekuba obwama buli omu nga abuuza munne ku kyatuuka ku musajja wabwe atalabikako.
Abalala olutuuka mu kkantiini ya Palimenti gye bafunira eky’okulya Oulanya yefuuka emboozi , kyokka nga batya okuvaayo mu lujjudde okukyogerako.
Abamu ku beetwogeddeko nabo abatayagadde kwatuukirizibwa mannya bagamba nti olumu ne by’okwogera ku nsonga eno bibabula kubanga buli muntu ayogera kikye, kye bagamba nti singa omumyuka we Hon. Anita Among tavaayo kunyonyola kituufu ku bikwatagana ku bulamu bwa Sipiika Oulanya wiiki ejja kye kimu ku bigenda okubeera ku mwanjo mu luteesa lwa Plaimenti olugenda okusooka.
Oulanya yabuuka nagenda mu Ggwanga lya Bungereza gye buvuddeko nga kigambibwa nti yali teyewulira bulungi mu bulamu bwe, era nga tekyamanyika oba yali alwadde obulwadde bwa Covid 19 oba nedda.
Ensonda era zaategeeza nti ono yali alinamu obukosefu mu lubuto, yadde nga yali amaze akabanga nga ategeka olugendo lwe okugenda okusisinkana abantu be abali mu Ggwanga lya Bungereza.
Palimenti era yavaayo ne yesammula ebyali bigambibwa nti Sipiika mulwadde, era omwogezi wa Palimenti Chris Obore yategeeza nti bino byali bya bulimba nga omukulu yali agenze kulaba ku bantu ba Famire ye abali mu Bungereza oluvanyuma lwa kaseera akazibu ke yayitamu nga anoonya akalulu k’obwa Sipiika.
Wabula ababaka bagamba nti beetaaga okumanya mukama wabwe gyali, saako ne mbeera gyalimu nga kino bwe kitakolebwa mangu bagenda kusaba okumanyisibwa mu lujjudde ebimukwatako wiiki ejja.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com