MUHAMMAD Muwanga Kivumbi omubaka akiikirira essaza lye Butambala mu Palimenti yalondeddwa okubeera Ssenteba wa babaka abava mu Buganda.
Ono asikidde Johnson Muyanja Senyonga ataasobola kudda mu Palimenti.
Muwanga nga yawangulira ku kaadi ya NUP, kitegezeddwa nti alondeddwa bannakibiina kye saako n’ababaka abalala ab’oludda oluvuganya.
Ababaka be kibiina ekiri mu buyinza ekya NRM okulonda bakuzize nga bagamba nti tekubaddemu mazima olw’okuba aba NUP ku lw’okubiri baalaze nga bwe baagala ebifo 5 byonna eby’okuntikko nga baalesewo 4 byokka abyabadde bilina okulwanirwa aba NRM saako n’abeb ibiina ebilala.
Bano kigambibwa nti nabo bayinza okulonda akakiiko akaabwe nga bwe kibadde ,mu Palimenti ewedde ababaka ba NRM bwe baasinziira e Kyankwanzi ne balonda James Kakooza nga abakiikirira nga bawakanya obukulembeze bwa Senyonga.
Mukusooka omubaka wa Mukono Munisipaari Betty Nambooze Bakireke yekandazze naafuluma olukiiko lwa NUP olwasazeewo okuwagira Muwanga Kivumbi nga agamba nti baamuyisizaamu amaaso.
Guno gwe mulundi ogusoose ab’oludda oluvuganya okulondebwa ku bwa Ssentebe bwa kakiiko ka Buganda.
Ono agenda kumyukibwa Dr. Micheal Bayiga Lulume
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com