OLUVANYUMA lw’okusunsulwa akakiiko ka Palimenti akakola ku kukakasa abalondeddwa omukulembeze we Ggwanga, ba Minisita abaayitamu bagenda kukuba ebilayiro byabwe ku kisaawe e Kololo olwaleero.
Bano bagenda kulayira mu nkola eya sayansi okwewala omugotteko omungi oguyinza okuvaako ekilwadde kya Covid okubatabaala.
Mu kino bonna abagenda okwetaba ku mukolo guno omuli ne bannamawulire bonna baamaze dda okukeberebwa sennyiga omukambwe, ne kizuulibwa nti bonna bali bulungi.
Omukulembeze we Ggwanga Yoweri Kaguta Museveni yagenda okuba omugenyi omukulu ku mukolo guno.
Kyokka Minisita we Nsonga z’obwaPulezidenti Hon. Milly Babirye Babalanda omukolo guno tagenda kugubaako olw’okuba nga yeetabyeko noomu ku bantu abaazuuliddwamu ekirwadde kya Covid era nga mu kiseera kino yeyawudde ku bantu bonna okusobola okufuna obujjanjabi obusookerwako, okusinziira ku Faruku Kirunda munnamawulire wa Pulezifdenti.
Alice Kaboyo eyali alondeddwa ku kifo kya Minisita wa kanyigo ke Luwero tagenda kwetaba ku mukolo guno, oluvanyuma lwa kakiiko akasunsula abalondeddwa okumukasuka e bbali nga kamulanga okuba nti yasingisibwa emisango gy’okubulankanya ensimbi ezaali ez’okugema omusujja gwe nsiri mu mwaka gwa 2012.
Abalala John Mulimba ne Muruli Mukasa nabo olwaleero tebajja kulayira olw’embeera yabwe ey’obulamu okuba ennafu.
.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com