POLIISI efulumizza alipoota ku bikwata ku kufa kwabadde Ssentebe wa Disitulikiti ye Kayunga Muhammad Ffeffekka Sserubogo eyasangiddwa ng’alengejjera ku muti okumpi n’amakaage ku luguudo oludda e Busaana.
Charles Twine ayogerera ekitongole kya Poliisi ekinoonyereza ku misango ategezezza nti alipoota eno yakoleddwa abasawo abakugu 3 nga kwotadde n’owokuna atalina ludda ne bakizuula nti Serubogo yafudde oluvanyuma lw’okubulwa omukka ogw’okussa nga kino kyavudde ku muguwa ogwamubadde mu bulago ne gugatta emimiro.
Twine agambye nti kino kitegeeza nti Sserubogo yeetuze bwetuzi, nga kino kijjewo ebibadde bigambibwa nti alabika yattiddwa buttibwa.
Anyonyodde nti alipoota eno abakugu baagisomedde mu maaso g’abenganda za Serubogo okuli Abubaker Kikuubo, omusawo wa Famire nga kwotadde n’omuyukawe ku Disitulikiti e Kayunga Joel Kayita.
Mu kusooka wabaddewo ebiyitingana okuva mu batuuze e Kayunga, ab’enganda z’omugenzi ne bannabyabufuzi nga bagamba nti oba oli awo Serubogo yattiddwa buttibwa oluvanyuma n’awanikibwa ku muti.
Abalala bagamba nti olw’okuba abadde yewera okulwanyisa enguzi nga kwotadde n’obibbi bwe ttaka e Kayunga ye nsonga lwaki yattiddwa.
Serubogo agenda kuziikibwa leero mu Gombolola ye Busaana mu Kayunga.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com