AKAKIIKO ka Palimenti akasunsula abalondeddwa Pulezidenti we bwazibidde olw’okubiri nga kaakasunsula ba Minisita 24, kyokka nga waliwo 3 abaabadde bazze okusunsulwa n’ekizuulibwa nti bano ebiwandiiko byabwe eby’obuyigirize n’amannya byagaanye okukwatagana ne balagirwa beetereze badde enkeera.
Abaaganiddwa amannya gaabwe gaasirikiddwa okusinziira ku amyuka Sipiika wa Palimenti Anita Among, kyokka nga mu kiseera kino bbo abayise ku kaguwa beebano wammanga.
Minisita avunanyizibwa ku bibamba ne bigwa bitalaze, Eng. Hirary Onek, Minisita we byamawulire n’okulungamya e Ggwanga Chris Baryomunsi, Franka Tumwebaze Minisita we by’obulimi, Owebyensimbi Matia Kasaija, avunanyizibwa ku nkolagana n’amawanga amalala Gen. Jeje Ondongo, Gen. Edward Katumba Wamala ow’ebyenguudo n’entambula saako ne Vicent Bamulangaki Sempijja ow’ebyokwerinda n’abazilwanako.
Abalala mulimu Minisita wa masanyalaze ne by’obugagga eby’omuttaka Ruth Nankabirwa, avunanyizibwa ku nsonga ze Karamoja Maria Gorret Kitutu, owe kikula ky’abantu Betty Amongi, avunanyizibwa ku ttaka n’amayumba Judith Nabakooba, Minisita we nsonga z’omunda mu Ggwanga Kahinda Otafiire, Raphael Magyezi owa Gavumenti ezebitundu, Tom Butime ow’ebyobulambuzi, Francis Mwebesa ow’ebyobusuubuzi n’amakolero nga kwotadde Sam Cheptoris owamazzi ne n’obutonde bwensi.
Ababeezi kuliko Peter Ogwanga ow’okutekerateekera eby’enfuna, Rose akello ew’empisa n’obuntu bulamu, Dianna Mutasingwa omubeezi mu offiisi y’omumyuka wa Pulezidenti, Esther Anyakun owa mambuka ge Ggwanga ne Agnes Nanduutu omubeezi owe Karamoja.
Nga obudde bugenderera ne Minisita we nsonga z’obwaPulezidento omuggya Milly Babirye Babalanda naye yasunsuddwa oluvanyuma lw’okuleeta ebiwandiiiko by’obuyigirize saako n’amannya amatuufu .
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com