PALIMENTI bwe bade etandika emirimu gyayo ku lw’okuna esoose kukakasa ababaka abagenda okutuula ku kakiiko akasunsula abalondeddwa Pulezidenti okuli ne ba Minisita.
Kiko kikoleddwa oluvanyuma lwa Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni okufulumya olukalala lwa ba Minisita baagenda okutambuza nabo e Ggwanga mu kisanja kye ekya 2021-2026.
kibiina kya NRM ekiri mu buyinza kyasindika ababaka baakyo 22, kyokka 3 okuli Frank Tumwebaze, Joyce Moriku Kaducune Diana Mutasingwa ne bawebwa obwa Minisita nga kati kitegeeza nti bano tebagenda kutuula ku kakiiko kano kubanga ate be bamu ku bagenda okusunsulwa.
Mu bano kuliko Gen Peter Elwelu(UPDF), John Baptist Nambeshe, Aisha Kabanda ne Joseph Ssewungu nga bano ba kibiina kya National Unity Platform NUP.
Abadde akulira oludda oluwabula Gavumenti mu Palimenti Betty Aol Ochan ne Isaias Ssasaga be bagenda okukiikirira ekibiina kya FDC ku kakiiko kano, abalala kuliko Alum Santa Sandra(UPC), Peter Okot(DP),Asuman Basaalirwa (JEEMA) ne Santa Okot(PPP).
NRM be yawereza kuliko Joyce Moriku Kaducu, Frank Tumwebaze, Okullu Abuka, Betty Engola, Rose Akello, Dr. Florence Assimwe, Sarah Mateke, Arinaitwe Rwakajara, Fred Kambale, Diana Mutansingwa ne Sarah Najjuma.
David Kabanda, Robinah Rwakojo, Cissy Namuju, James Kubeketeriya, Denis Orone, Patrick Aeku, Irene Muloni, Fadil Twalla, Alex Ndezi, Benard Odoi ne Catherine Mavenjina, nabo ku kakiiko kano bagenda kubaako nnyo nga beetegereza ebyetaagisa abaalondeddwa.
Akakiiko kano kagenda kutandika okukola amangu ddala kubanga ba Minisita balina okutandika okukola emirimu mu bwanga ddala.
Kasuubirwa okutandikira ku kusunsula SsabaMinisita saako n’omumyuaka wa Pulezidenti olunaku lwe nkya.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com