POLIISI ye Ggwanga etegezezza nti tebalina muntu yenna gwe baakutte ku nsonga z’okutemula Gen. Edward Katumba Wamala nga bwe bibadde biyitingana ku mikutu gya mawulire.
Omwogezi wa Poliisi ye Ggwanga Fred Enanga bwabadde ayogerako ne bannamawulire ku mande ategezezza nti okunonyereza abeetaba mu butemu buno kugenda mu maaso, era nagamba nti ebitongole ebikessi biri mu kawefube wa maanyi okusobola okubazuula.
Ennaku zino wabaddewo ebiyitingana ku mitimbagano nti abantu 4 abeetaba mu kwagala okutemula Gen Katumba baakwatibwa, mbu era baali bakuumirwa ku kitebe kya bambega ba Poliisi e Kireka, bino Enanga agambye nti bikyamu tebanaba kukwata yadde noomu.
Enanga anyonyodde nti ebitongole okuli CID, Crime Intelligence, Special Forces Command (SFC) and Chieftaincy of Military Intelligence(CMI) byonna bitereddwawo okulaba nga binonyereza ku nsonga eno okutuukira ddala nga ekomekkerezeddwa.
“Tugenda kukozesa ebimu ku bifananyi bye twazuula okuva ku kkamera zaffe enkessi, ebisosonkole bya masasi bye twazuula mu kitundu awaali obutemu nga kwotadde n’abantu be tumaze okujjako obujulizi abaali mu kifo ekyo yadde nga tetubatwala nga abeetaba mu kikolwa ekyo, tulowooza nti biyinza okubaako we bitutuusa okusobola okuzuula abatemu” Enanga bwagambye.
Gen. Katumba Wamala ku lw’okubiri oluwedde yalumbibwa abatemu 4 abaali batambulira ku pikipiki ku kyalo kisota ekisangibwa okumpi ne Kisaasi bwe yali agenda okukubagiza mukyala we oluvanyuma lw’okufiirwa nnyina, abatemu ne basindirira emmotoka ye amasasi ne gattirawo muwalawe, Ddereva we naye nagendera ku bisago mu mikono.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com