BRENDA Nantongo ye muwala wa Gen. Edward Katumba Wamala attiddwa mu bulumbaganyi obubatuusiddwako ku makya g’olwokubiri mu bitundu bye kisaasi.
Ono abadde yakava mu Ggwanga lya America gyabadde ku misomo egy’enjawulo, era nga kigambibwa nti okutambula ne kitaawe abaddeko emirimu gyagenda okukolako mu kibuga Kampala.
Omulala afudde ye mugoba wa mmotoka ya Gen. Katumba amanyiddwa nga Haruna Kayondo bangi gwe boogeddeko nga omusajja abadde omukkakamu ennyo.
Brenda ono abamu ku baana be yakula nabo ku kyalo Nabuti e Mukono bamwogeddeko nga omwana abadde ayagala ennyo banne naddala be yakula nabo, nga yadde babadde baasenguka okuva e Mukono ne badda e Naguru.
Okusinziira ku Seemu Katabira omu ku batuuze be Nabuti Mukono agamba nti ono ne banne baayagalanga nnyo abaana naddala abanaku, era nga buli nkomerero ya mwaka beekolangamu omulimu ne bawaayo engatto eri abaana abadda ku massomero nga kino kyakolebwanga maama wabwe (Mukyala wa Katumba).
N’okutuuka kati Brenda abadde atera okudda ku kyalo Nabuti gy’abadde alina amayumba ga bapangisa gaazimba, era nga buli lwabadde ajja abadde atera okubuuza ku banywanyi be beyaleka ku kitundu.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com