OLUVANYUMA lwa Pulezidenti okulayizibwa saako n’omukubiriza w’olukiiko lwe Ggwanga olukulu okulondebwa era n’alayizibwa, BannaUganda kati balindirira lukalala lwa ba Minisita saako n’ababeezi baabwe olugenda okulangirirwa omukulembeze we Ggwanga essawa yonna okuva kati.
Olukalala luno lwaggwa dda, era Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni yekka yalindiriddwa okulufulumya mu butongole olwo akakiiko ka Palimenti akakola ku kwekeneenya abalondeddwa saako n’okubakakasa kakole ogwako, abanayitawo batandike okukola emirimu amangu ddala.
Ennaku zino Pulezidenti kati akola yekka emirimu kubanga gye buvuddeko olukiiko lwa ba Minisita lwonna lw’ayiibwa olw’ekisanja kyabwe okuba nti kyali kiweddeko.
Ensonda mu maka g’omukulembeze we Ggwanga zilaze nti mu bagenda obutabula mu lukalala luno kuliko, Abadde Sipiika w’olukiiko lwe ggwanga olukulu eyawanguddwa mu kulonda okwakaggwa, Rebecca Alitwala Kadaga kwali, Eyaliko SsabaMinisita we Ggwanga John Patrick Amama Mbabazi, Ssabawandiisi wa NRM Justin Kasule Lumumba, Minisita we nguudo ne ntambula Gen. Edward Katumba Wamala, Abadde omuwandiisi ow’ekyama mu offiisi ya Pulezident e Kyambogo Milly Babirye Babalanda, Eyaliko omuwandiisi wa Pulezidenti ow’ekyama Molly Kamukama nabalala.
Kigambibwa nti kuluno Museveni okulonda ba Minisita yasinzidde nnyo ku bukozi bwabwe saako n’engeri gye baakolamu mu kalulu akaggwa, abamu ku ba Minisita abatakola bulungi mu bitundu byabwe basuubirwa obutadda mu Kabinenti.
BannaUganda balindirira enkyukakyuka eno esuubirwa olw’aleero olw’eggulo oba enkya mu biseera by’okumakya.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com