SSENTEBE wa Disitulikiti ye Mukono omuggya Rev. Peter Bakaluba Mukasa olumaze okulayira eby’okutuula mu offiisi n’abissa ku bbali nga mu kiseera kino abakanye n’emirimu egy’enjawulo gye yasuubiza bannaMukono nga anoonya akalulu akaamutuusa mu bukulembeze.
Bakaluba olunaku lw’omukaaga yalumaze mu kitongole ekikola enguudo ekya Disitulikiti ekisangibwa ku kyalo Kawuga nga yekeneenya ebyuma ebikola enguudo, nga omu ku kawefube w’okulaba nga ataasa bannaMukono abamukaabira enguudo eziri mu mbeera embi ennaku zino.
Kye yasanze mu kitongole kino kyewunyisa kubanga ebyuma ebisinga obungi yasanze bili ku ttaka, nga byonna byayononeka byansusso era nga tebikyasobola kutambula, by’akwamira mu luggya we bisimbibwa, nga ne bilala byafuuka bizaaliro bya mese n’abuwundo.
Bakaluba agamba nti kati kawefube gw’agguddewo wakusooka kuddabiriza byuma bino, omuli Ttulakita ezirima enguudo, ebitikka ettaka, ebinyiga ettaka, emmotoka loole ezikola emirimu egitali gimu, bu Tulakita obutono obuddabiriza enguudo ne bilala, nti kyokka ekimukanze byetaagisa sente nnyingi okukolebwako okusobola okudda mu mbeera ekola emirimu.
Yagambye nti agenda kukola ekisoboka okulaba nga addabirizaako ez’etaagisibwa ennyo mu kiseera kino ne bwe kinaaba kyetaagisa kukozesa sente ze, kubaanga abantu mu byalo bali mu mbeera mbi olw’enguudo eziludde okulimibwa nga kati zonna zitudde mu binnya.
“Mutusabire singa Mukama atuyamba ne tuzikanika zonna ne ziggwa buli Ssaza lijja kubeera ne Ttulakita eyalyo nga tunoonya bunoonya mafuta, enguudo nga zilimibwa, kino kigenda kusobozesa abantu baffe okutambuza ebyamaguzi byabwe okubitwala mu butale nga tebatawanyiziddwa nnyo” Bakaluba bwe yagambye.
Yayongeddeko nti ebyuma bino bwe binaaba nga biwedde bulungi asuubira nti abakulembeze omuli ba kkansala saako ne ba Ssentebe ba magombolola bajja kutuulanga wansi n’abatuuze basobole okukkaanya ku nguudo eziri obubi ennyo basobole okutandikira ku ezo.
“Nze sigenda kufaayo ku bantu kiki kye boogera yadde abanvuma, wabula ngenda kukolera bantu abannonda bensuubira nti kati beetaaga obuwereza okuva gye tuli nga abakulembeze, okwogera ssi kikulu naye emirimu egikoleddwa kye kisinga obulungi era nsaba bakulembeze banange tufeeyo nnyo ku by’okukola okusinga okwogera kubanga eby’obufuzi byaggwa kati ssawa ya kukola era kati nze nsimbudde” Bakaluba bwe yagambye.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com