ABADDE Meeya we kibuga kye Entebbe Vicent Kayanja De-Paul akombye kw’erima nagaana okuwayo offiisi eri munne ey’amuwangula mu kulonda okwaggwa Fabrice Rulinda nga agamba nti tasobola kuwaayo offiisi ya bantu baamulonda emisana ttuku eri omubbi.
Kayanja ataalabiseeko ku mukolo gw’okulayira kw’abakulembeze b’Entebbe agamba nti yakikoze akigenderedde obutawaayo offiisi eri Rulinda nti kubanga ye yawangula obwa Meeya, era ne alipoota gye baabadde bamusabye nayo yagiremedde nga agamba nti byonna bikyali bibye.
“Ne bwe banakola batya sijja kuwaayo buyinza eri omubbi gwe natwala ne mu kkooti, okujjako nga omusango guwedde siyinza kukkiriza bujoozi” Kayanja bwe yagambye.
Kayanja ono yamala emyaka 10 ku bwa Meeya bwe kibuga kya Entebbe, nga kuluno yawangulwa Fabrice Rulinda kyokka n’amutwala mu kkooti nga agamba nti yalangirirwa mu bumenyi bwa mateeka.
Mu kusooka wabaddewo obunkenke ku kitebe kye kibuga Entebbe, nga aby’okwerinda binywezeddwa oluvanyuma lw’okuwulira nti wabaddewo abantu abaabadde beesomye okukola akavuyo nga abawakanya okulondebwa kwa Rulinda.
Yadde nga Kayanja yeeremye okujja ku kitebe okuwaayo offiisi y’obwaMeeya, kino tekyagaanye mikolo gy’akulayiza Meeya mupya era nga mu kifo kye akulira abakozi Charles Magumba yeyayimiriddewo mu kifo kye era offiisi n’ekwasibwa Rulinda mu butongole.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com