OMUKULEMBEZE w’abayisiraamu ku kitebe ekikulu e Kampala Mukadde Mufuti Shaban Ramathan Mubaje asabye Omukulembeze we Ggwanga Yoweri Kaguta Museveni okwekuba mu kifuba ayimbule abasibe bonna abaakwatibwa ku nsonga z’ebyobufuzi mu kulonda okwaggwa, kyagambye nti kino kijja kuzza emeeme za bantu baabwe muu nteeko nga balabye ku baana baabwe nga balamu.
Okwogera bino Mubaje abadde akulembeddemu okusaala Eid Elfitr oluvanyuma lwa benzikiriza ye kiyisiraamu okumalako ekisiibo ekikulungudde ennaku 30 nga beegayirira Katonda mu ngeri ezitali zimu.
Mu kwogera kwe asoose nayozayoza omukulembeze we Ggwanga olw’okulayira okwawedde ku lw’okusatu, era namusaba akwatirwe ekisa abasibe abali mu makomera olw’ensonga z’ebyokulonda abayimbule kyagambye nti kigenda kuyamba okukkakkanya embeera ye mitima gyabazadde baabwe egyewanise mu kiseera kino.
Ono era yebazizza abantu bonna baayise ab’omutima omulungi abadduukiridde abayisiraamu mu kiseera kye kisiibo kino n’asaba Mukama abaddizeewo kubanga okulabirira abanaku Katonda akw’okongera empeera buli kadde.
“Omulundi guno tufunye obuyambi bungi nnyo okuva mu bannaffe n’amakkampuni ag’enjawulo, ekituwadde essanyu kubanga abantu baffe abanaku bangi abaganyuddwa mu ntekateeka eno mu kiseera kino eky’ekisiibo” Mubaje bwagambye.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com