Omukubiriza w’olukiiko lwe Ggwanga Olukulu Rebecca Alitwala Kadaga alabudde Ababaka abaggya okwewala okwewolawola ensimbi okuva mu ma Banka ezitalina kigendererwa, kyagamba nti kino kivuddeko Ababaka bangi okuva mu lukiiko luno nga baavu lunkupe.
Kadaga agamba nti bangi KU babaka batuuka okwabuulira olukiiko lwe Ggwanga nga tebalina kyabugagga kyonna kiyinza kubabeezawo, okwensonga nti baba ensimbi zonna baazirya kivubi saako n’okuba nti zonna ziba ziggweredde mu mabanja ga zi Banka n’ebasekinoomu abawola abakazibwako ba Money Lenders.
“Mbakubiriza musooke kumanya muwendo gwa nsimbi ze kugenda okufuna, olwo mulyoke mupulaninge nga buli kimu mukitegedde bulungi, saagala mbalabe nga abababanja babateega wano KU Palimenti okubakwata ekintu ekiswaza ennyo ekitiibwa kyammwe” Kadaga bwe yanyonyodde.
Okwogera bino yabadde mu lukiiko lwa bannamawulire KU mande nga ayogera engeri Palimenti eye 10 gyegenda okukomekkerezebwamu KU lunaku lw’okutaano olwa wiiki eno, saako ne mitendera abaggya Ababaka abaggya mwe bagenda okuyita okulayira saako nokutandika emirimu gyabwe mu butongole.
Yategezezza nti akimanyi nti abawola ensimbi balina bu offiisi bungi okuliraana ekizimbe kya Palimenti nti era ennaku zino babeera bawereza Ababaka abaggya obubaka nti basobola okubawola akawumbi ke sente bakasasule mu myaka 5, Agamba nti ensimbi zino wewawo sisobola okubayambako KU mabanja ge balina mu kiseera kino, nti kyokka tekyandibadde kilungi kuziggyayo nga omwezi gw’omunaana tegunatuuka.
“Mu kiseera kino temunaba kumanya muwendo gwa sente gwe mugenda kufuna, naye bwe mulindako kijja kubayamba okusooka okwetereeza mumanye kye mugendako” Kadaga bwe yayongeddeko.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com