MU kiseera kino Minisita omubeezi ow’ensonga za Bakozi Mwesigwa Rukutana alya butaala oluvanyuma lw’okuggibwako emisango egyali gy’amuwawabirwa mu biseera bya kalulu.
Kkooti ento mu bitundu bye Ntungamo nga ekubirizibwa omulamuzi Gordon Muhimbise ku lw’okutaano yamwejjerezza emisango gyonna 7 okuli ogw’okugezaako okutta omuntu nga akozesa emmundu, okutiisatiisa okukola obulabe ku muntu saako n’okwonoona ebintu egibadde gimuvunanibwa.
Okusinziira ku mulamuzi Tumuhimbise agamba nti obujulizi bwonna obw’aletebwa oludda oluwaabi bwe baalowooza nti buyinza okuluma obuterevu Minisita Rukutana bwonna bwali bwakufumbirira nga tebulina muzinzi.
Yagenze mu maaso nanyonyola nti oludda oluwaabi era telwalina yadde obujulizi obutuufu okujjako obulimba obwerere era nagamba nti teri kkooti eyinza kusinziira ku bwo nesingisa muntu yenna musango nga kino kyeyolekera mu kuwanyisiganya ebibuuzo mu kkooti.
Bannamateeka ba Rukutana okuli Caleb Alaka, Evans Ocheng ne Owen Murangira bategezezza nti bagenda kuggulawo emisamngo ku Ssabawolereza wa Gavumenti asasulire okusibira omuntu waabwe obwerere.
Bategezezza nti okunonyereza kwa Poliisi kwali kunafu nnyo okwatuusa n’omusango mu kkooti nga obujulizi obuluma omuwawabirwa tebuliiwo.
Minisita Rukutana oluvanyuma lw’okusalawo kw’omulamuzi yeebazizza Katonda naatema akakule abamuwawabira nti baali balowooza nti kkooti kadaala ka byabufuzi omuntu gyasobola okugenda nalimba.
“Abampabira mbagelageranya ku ba Babilooni ab’omuBayibuli abaagezaako okuzimba omunaala basobole okutuuka ku Katonda naye era tebamutuukako kubanga baalina endowooza enafu” Rukutana bwe yagambye.
Ono abadde avunanibwa emisango egibadde gigambibwa nti yagiddiza ku kyalo Kagugu, mu Gombolola ye Rubaare mu Ssazaza lye Rushenyi e Ntungamo mu biseera by’okulonda akalulu akamyufu aka NRM.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com